cancer

TULWANYISIZE WAMU KOOKOLO LEERO

Emikolo gy’olunaku lw’ekirwadde kya Kookolo emikulu egy’eggwanga gitegekeddwa olwa leero mu district ye Tororo mu Buvanjuba bw’eggwanga ku ddwaliro lya Kiyeye Health Centre II erisangibwa mu ggombolola ye Nabunyonga wansi w’omulamwa ogugamba nti ‘’ Bwetuba nga tusobola nange nsobola’’ ng’ekigendererwa ky’olunaku luno emirundi gyonna lweruzze lukuzibwa ssi kusukkulumya kirwadde wabula okwekwanyizaamu embavu n’empenda ez’enjawulo eggwanga mwerisobola okuyita okulwanyisa awamu n’okujjanjaba ekirwadde kino ekya kookolo.

Ssekamwa w’eddwaliro erijjanjaba ekirwadde kino mu ggwanga erya Uganda Cancer Institute Christine Namulindwa agambye nti olunaku olwa leero bagenda kulweyambisa mu kumanyisa abantu kalonda yenna akwata ku kirwadde kya kookolo omuli emitendera munnayuganda gyeyaaliyiseemu okukyewala okwo ssaako bwekijjanjabwa oyo akirina.Emikolo gy’olwa leero giwomeddwamu omutwe ministry y’eby’obulamu awamu ne Uganda Cancer Institute.

[fbcomments data-width="100%"]