ABA UPDF E SOMALIA BAAKUFUNA AKASEKO

Olukiiko lw’eggwanga lusazeewo ensako z’abannayuganda abakakkalabiza mu ggwanga lya Somalia ziddizibwewo.Ababaka balaze okukwatibwako kw’ensonga y’ensako z’abaserikale bano ezinogolwako ekinene kyenkana ku buli mutendera atenga bakolera mu mbeera etali nnyangu.

Kinajjukirwa nti okukendeezebwa kw’ensako z’abajaasi bano kwabaawo mu mwezi ogwa Gatonnya Ogw’olubereberye omwaka oguwedde.

ABEEKAKAATIKA KU BAKYALA MU UPDF BANONYEREZEBWEKO

Eggye ly’eggwanga erya UPDF lisabiddwa obuteesuulirayo gwannaggamba ku bigambibwa nti abajaasi baalyo beekakaatika ku bakyala n’abawala muggwanga lya Central African Republic.

Lewis Mudge omu ku banonyereza ab’ekitongole ky’eby’eddembe ly’obuntu ekikakkalabiza mu ggwanga erya America ategeezezza nti Uganda n’omukago gw’amawanga ga Ssemazinga ono bateekeddwa okukola okunonyereza okwetaagisa ate bakangavvule n’abajaasi abeetaba mu bikolwa bino.

ABA UPDF BAKALIGIDDWA

Okuvaako mu mbuga z’amateeka,abajaasi b’eggye ly’eggwanga erya UPDF babiri bakaligiddwa okumala emyaka 15 ku meere e Luzira lwakusingisibwa musango gwakulumba nkambi ye Mbuya mu mwaka gwa 2013.

Abasibiddwa kuliko Leutenant Augustine Moro ne Keneth Kalokwera Okello bwabadde abakaliga,Ssentebe wa kkooti y’amagye Lt. Gen Andrew Gutti ategeezezza nti ekibonerezo kino kisaanidde abasajja bano ne bannaabwe abandyenyigidde mu kukola kye kimu beekomeko nga w’asibidde bano nga waliwo n’emisango emirala ena mu kkooti yeemu.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo Credit: Chimp Reports

ABABBI MU UPDF BASIBIDDWA

Abaserikale b’eggye ly’eggwanga erya UPDF babiri bakaligiddwa okumala emyaka ena mu Kawome oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okwekobaana mu bubbi.

Omulamuzi wa kkooti enkulu Yasin Nyanzi yakizuula nga bano okuli Agaba Nelson ne Agaba John ddala beekobaana ne banyaga Doola za America Emitwalo kkumi okuva ku munnansi wa China Luo Lei okwo nebagattako n’Akakadde ka ssente za wano kalamba mu bitundu bye Kololomu mwaka gwa 2012.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

 

UPDF ESAMBAZZE EBY’EMMUNDU EZ’EBIKWANGALA  

Eggye ly’eggwanga erya UPDF lisambazze ebibadde bitandise obungeesebwa nti abanene mulyo beevumbye akafubo mu ggandaalo eriyise nebabaako eby’ensonga byebamuumunyamu okuli n’okusonga ennwe mu muduumizi waalyo ow’amagye ag’okuttaka Brig Leopold Kyanda.

Ssekamwa w’eggye lino Lt Col Paddy Ankunda ategeezezza nti mpaawo mbeera yonna erimu nteekateeka ya mmundu ngingirire yaababaddemu egambibwa mbu enonyerezebwako Col Mbonye n’abanene mu bwambega mulyo.

Photo: Red Pepper Uganda

OMUNENE MU GGYE LYA UPDF ADDUSE MU KADUUKULU

Poliisi e Mpigi esamba nsiko mu kaweefube w’okunonya omuserikale w’eggye ly’eggwanga erya UPDF Captain James Lukwago agambibwa okwemulula n’ava mu kaduukulu kaayo ku kitebe e Mpigi n’ateekako kakokolatondekannyuma.

Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu lya Katonga Philip Mukasa ategeezezza nti ono yakwatibwa ku bigambibwa nti yalina ekkobaane ku bubbi bw’emmotoka y’abayimbi Geoffrey Lutaaya ne Irene Namatovu.Philip Mukasa agamba nti ono w’abombedde abadde tannasimbwa mu kaguli ku bitebya nti era omuyiggo ogw’okumuzza gutandikiddewo nga kajjojijjoji w’ebibuuzo atandikidde ku baserikale abaabadde ku mulimu mu budde Captain James Lukwago mwagambirwa okutoloka okuli;Corporal Ekurati Ben ne Surgent Nampiima Rose.

OWA UPDF YASENGA MULAGO N’OBULWADDE KU MUTWE

Omu ku baalwanirira eddembe bannayuganda lyebeeyagaliramu olwa leero eyakolerako mu ggye ly’eggwanga erya UPDF alaajanidde eggye lino okumudduukirira ajjanjabwe awone obulemu bweyafunira mu mirimu gyeggye lino.

Bwayogeddeko naffe musajja wa akatonda ono Ediriisa Kamoga Number RA023658 kati eyabudamizibwa mu ddwaliro ekkulu erye Mulago n’ab’omu makaage bonna ategeezezza nti yafuna obuvune ku kawanga bwebaali mu kulwanyisa abayeekera ba Mawale Kony mu Bukiikakkono bw’eggwanga lino bweyali ku Radio Call ng’anonya amayengo agasaka amawulire mu lutalo weyali ayimiridde wamale wakubwe ekikompola ekyamuleetera okuyitwa amasannyalaze mu kawanga nekajjako olwatika.

Kamoga agamba nti yajjanjabwako naye n’atatereera ssonga n’akasiimoke bukyanga awummuzibwa agamba takafunanga atenga baabuwe n’ebibye byawambwa nnanyini nnyumba mweyabeeranga e Bbombo weyajjanjabirwako mu ddwaliro ly’amagye.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: www.monitor.co.ug

 

EGGYE LISAMBAZZE EBIBADDE BIRIKONJERWA E SOUTH SUDAN

Enteekateeka ya Gov’t ey’okuzza bannayuganda abakyakwatiddwa olutalo mu ggwanga lya South Sudan yaakuggyibwako akawuuwo olunaku olw’enkya.

Kinajjukirwa nti olunaku olw’eggulo Gov’t yalagidde okuggya bannayuganda mu bitundu bya South Sudan n’okusingira ddala abali mu Buvanjuba bw’omugga Nile mu kitundu kye Nisitu ng’enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe eggye ly’eggwanga erya UPDF.

Ssekamwa w’eggye ly’abaana baffe aba UPDF Paddy Ankunda ategeezezza nti kalonda yenna abadde akyabulayo awedde era enkya batandika okuzza abaana battu abasobereddwa mu ggwanga lino.

Ono era asambazze ebyayogeddwa nti eggye lya UPDF lisindikiddwa mu ggwanga lino kuyamba Salva Kiir kwenywereza mu buyinza.

 

ETTEEKA ERIRWANYISA OKUTULUGUNYIZIBWA ESSIRA LIRITADDE KU POLIISI

Abakwasisa etteeka erirwanyisa okutulugunya erimanyiddwanga Ant-Torture Law basabiddwa okukyusa endaba y’etteeka lino baliggye mu kwolekeza obwanga poliisi n’ebitongole ebirala eby’eby’okwerinda.

Christine Nanding amyuka ow’eby’eddembe ly’obuntu n’eby’amateeka mu ggye ly’eggwanga erya UPDF ategeezezza nti abakwasisa etteeka lino n’okusingira ddala abakungu b’ebitongole ebirwanirizi by’eddembe bwebataakyuse ndaba yaabwe na bwanga kubuggya ku bitongole bya byakwerinda bandiwunzika ng’etteeka libalemeredde okukwasisa.

Nanding ategeezezza nti abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu basaanidde bateeke ebitongole bino ku mwanjo mu kaweefube w’okulikwasisa baleke kutunuulira ate abaalibayambyeko mu kuliteekesa mu nkola.

Bino ono abyogeredde mu lukungaana lw’entegeeragana olutegekeddwa ekitongole ekiddaabulula n’okubudaabuda abatulugunyiziddwa ekya Africa Centre for Treatment and Rehabilitation of Torture Victims olugendereddwamu okutemera etteeka lino oluwenda lw’okulimanyisa bannayuganda.

Olukungaana luno lwerumu ku bikujjuko ebitegekeddwa ng’eggwanga lyeteekerateekera okwegatta ku mawanga amalala okukuza olunaku lw’abatulugunyiziddwa ng’ennaku z’omwezi amakumi 26th omwezi guno ogwa Ssebaaseka.

 

UPDF YEEGANYE OKUGGYA ABAJAASI KU MUSINGA WA RWENZURURU

Eggye ly’eggwanga erya UPDF lisambazze ebibadde byogerwa nti lyaggyeyo abaserikale ababaddenga bakuuma Omusinga wa Rwenzururu oluvannyuma lw’obulumbaganyi obwakolwa abagalagala b’omusinga bwebaayamabalagana n’abaserikale b’eggye lino omwafiira ababiri kubo n’abantu abalala aba bulijjo ababiri.

Ssekamwa w’ekibinja ky’eggye ly’eggwanga erya UPDF eky’okubiri Ronald Kakurungu ategeezezza nti obukuumi obuweebwa Omusinga ddembelye nga kirambikiddwa mu Ssemateeka w’eggwanga nti era baatuukiriddedda Omusinga ku nsonga z’okulwanagana okwaliwo nebabaako n’emmundu ssatu zebaggyeeyo wabula eky’okumuggyako obukuumi tebannakikola.

Kakurungu ategeezezza nti kati bagezaako kulaba bwebalungamya nduumira yaabakuumi wakati w’abagalagala abakuuma Omusinga n’ab’eggye ly’eggwanga waleme nate kuddamu kulabwayo mbeera bweti.