DDAAKI SAVIO KABUGO AKOMYEWO

Omuzibizi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ne URA FC kyaddaaki akomyewo. Savio Kabugo asangiddwa ng’atendekebwa mu ggiimu ya Wooteeri ya Africana ategeezezza nti yalongoosebwa bulungi n’awona era ng’ekyasinga okumuyamba kwekugoberera abasawo byonna byebaamugambanga.

Ono agenze mu maaso n’ategeeza nti  asiimyennyo okudda ate n’aba ng’akyalina obulamu bweyeebalizza katonda era n’agamba nti  mwetegefu okuwaayo kyonna ekyetaagisa mu kudduukirira Kiraabuye (club) okuwangula ekikopo kya Azam Uganda premier League 2015/2016.

Savio agenda funa okuvuganya ku nnamba gyazannya ne Kasagga Richard,Sam Ssenkoomi,Jimmy Kulaba,Deo Othieno ne Bob Kasozi.Kinajjukirwa nti omuzibizi wa tiimu y’egwanga abadde amaze omwaka mulamba nga tazannya mupiira oluvannyuma lw’okulwalira ku ttiimu y’eggwanga ng’eri mu mpaka ez’okusunsulamu ez’ekikopo kya Afrika ekya 2015.

 

ABA UGANDA BASSIBWAKO ENVUMBO MU GYA CHAN

Nga Uganda ezannya omupiira gwayo ogusooka ne Mali mu mpaka za CHAN eziyindira mu gwanga lya Rwanda ,ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’omupiira mu Afrika kikasiza nga Ivan Ntege ne Hassan Wasswa Dazo bwebatagenda kuzannya mupiira guno.

Ivan Ntege yawezezza kaadi ezakyenvu ezimukugira okuzannya omupiira oguddako mu mpaka zino ate ye Hassan Wasswa Dazo yafuna kaadi emyufu nga Uganda ezannya ne Sudan mu mpaka ez’okusunsulamu abaneetaba mu CHAN 2016 e Nakivubo mu luzannya olusooka. Omutendesi wa Cranes Micho Multin agumuzza egwanga ,bwagambye nti abazannyi abali munkambi basobola bulungi okubikirira ebituli bino.

Micho amaaso agatunuulizza abazannyi babiri okuli Bernad Muwanga ne Timothy Awanyi nga kubano kwagenda okulonda omusika wa Ivan Ntege mu mupiira gwa Mali ogugenda okuzannyibwa akawungeezi ka leero mukibugi Gishenyi. Tiimu nga bwesuubirwa okutandika Leero: Ismail Watenga,Dennis Okoti,Ochaya Joseph,Kasagga Richard,Timothy Awanyi,Benard Muwanga,Kezron Kizito,Mutyaba Muzamir,Okhuti Ceasar,Miya Farouk,Ssekisambu Erisa.

UGANDA EZANNYA NE ETHIOPIA

Ddaaki Uganda Cranes etuuse ku luzannya oluddirira olw’akamalirizo mu kikopo ekiwakanirwa amawanga ag’amasekkati n’obuvanjuba bwa Ssemazinga w’Africa (CECAFA) era yaakuzannya ne ttiimu ya Ethiopia abategesi b’empaka zino omwaka guno.

Kinajjukirwa nti Uganda yawangudde Malawi bweyabakubye ggoolo bbiri bwereere(2-0).Ate ababadde bannantameggwa b’empaka zino aba Kenya bawanduddwamu Rwanda mu kakodyo ak’okusimulagana peneti oluvannyuma lw’omupiira okugwa amaliri okutuuka ku ddakiika ey’ekyenda.Enteekateeka y’emipiira nga bwegigenda okuzannyibwa mu luzannya olw’akamalirizo olwa leero ku lw’okuna eraga nti Uganda yaakwambalagana ne Ethiopia ku ssaawa mukaaga n’ekitundu ez’emisana (Uganda vs Ethiopia 6:30 ez’emisana) ate Sudan eyambalagane ne Rwanda ku ssaawa ssatu n’eddakiika amakumi 45 ez’emisana (Sudan vs Rwanda  9:45 ezemisana)