KABAKA AYAMBALIDDE KAWEEFUBE W’OKULWANYISA EKIRWADDE KY’OKUTONNYA

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asabye buli alina kyasobola okukola akikolerenga abakyala abatawanyizibwa ekirwadde ky’okutonnya ekimanyiddwanga Fistula.

Mu kwogerakwe okumusomeddwa Omwana w’engoma Omumbejja Nassolo Joan ku mukolo Obuganda kwebukwasirizza abaddukanya eddwaliro lye Kitovu ejjamba ery’okwongera okudduukirira abakyala abatawanyizibwa ekirwadde kino ogubadde wano mu mbuga ya Buganda e Bulange Mengo Ssaabasajja Kabaka ategeezezza nti mpaawo asanye kwesamba buvunaanyizibwa buno obukwata ku ba maama b’eggwanga.

Sister Nalubega Florence akulira eddwaliro lino eryazimbirwa ku musingi kw’obuminsane mu Ekerezia akwasiddwa obukadde bwa wano 70 mu nteekateeka y’okudduukirirwa abatawanyizibwa ekirwadde kino.

Ye Kamalabyonna wa Buganda Oweekitiibwa Charles Peter Mayiga asabye abaami okukomya okuddukanga ku bakyala baabwe nga bafunye ekizibu ky’obulwadde buno obw’okutonnya nga bwebazenga bakola wabula babeerenga wamu ne bakyala baabwe bagobererenga endagaano ze baba baakuba nabo nga babawasa kazibe za mu masinzizo oba ezaffe ez’enkola y’obufumbo bw’ekinnansi.

Ejjamba eridduukiridde eddwaliro lino okuva mu nteekateeka y’emisinde Ssaabasajja Kabaka gyeyasiima okuwomamu omutwe okuva mu mwaka gwa 2014 kati liwezezza Obukadde 190.

Sister Nalubega Florence akulira eddwaliro lino ku mukolo guno yeebazizzannyo Beene Ssaabasajja Kabaka wa Buganda olw’okulowooza ku bakyala n’alabula n’abatawanyizibwa ekirwadde kino baleme kufanga kisiiri baveeyo bagende mu malwaliro bajjanjabwe.

Photo: www.monitor.co.ug