SSEMAKA ASAZEESAZE MUKYALAWE N’OMWANA LWA POLOTI

Entiisa ezinzeeko ekyalo kye Kasusuba mu district ye Rakai Ssemaka bw’asanjaze mukyalawe n’omwana waabwe ow’emyaka ebiri gyokka n’abatta.Atwala eby’okunonyereza ku buzzi bw’emisango e Rakai David Mpande ategeezezza nti Ssemaka Edward Ssazi ow’emyaka 37 y’asse mukyalawe Eunice Nabwami n’omwana ng’amulanga kumusaba ku nsimbi zeyabadde aggye mu kutunda poloti.

Mpande agamba nti ono naye awonedde watono okugajambulwa abatuuze abakaaye okukira enjuki enkubemu ejjinja ng’emirambo giggyiddwayo negitwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Rakai.

BASATU AKABENJE KABALEMESEZZA OKUMALAKO OMWAKA

Abantu basatu bafiiriddewo mbulaga n’abalala mwenda nebalumizibwa byansusso mmotoka ya taxi mwebabadde batambulira nga badda Nakatoogo mu Rakai ebadde ewenyuka obuweewo Number UAX 144N bweyabise emipiira gyayo egy’omumaaso neryoka yeeyiringula emirundi egiweze mu kiro ekikeesezza olwa leero wali e Ninzi mu ggombolola ye Kaliisizo mu district ye Rakai.

Aduumira poliisi y’ebidduka e Rakai Swahib Muhumuza ategeezezza nti abafudde kuliko;John Kasita owe Kaliisizo,Ritah Nabbosa owe Kireka wano mu Kampala n’omuwala ateeberezebwa okubeera n’emyaka nga 14 ng’emirambo gitwaliddwa mu ddwaliro e Kaliisizo.

Abalumiziddwa Muhumuza agambye nti kuliko;Ismail Kakonge abadde avuga Taxi eno , Robert Kalyango abadde omubeeziwe (conductor) Justine Naluwuge omusawo mu ddwaliro ekkulu e Rakai, Nakasiita Betty Omusomesa ku Betherehem PS e Rakai, Ashiraf Ssekyondwa Kasirye owe Katikamu mu Luwero n’abooluganda okuli Namatovu Jane, Namubiru Hadijah, Namutebi Sarah abe Ndejje Lubugumu mu Wakiso.

Ono akabenje akanenyerezza kuvugisa kimama na ndiima wabula n’ategeeza nti abalumiziddwa bonna baddusiddwa mu malwaliro okuli erye Masaka ne Rakai.