Abatuuze be Kawuga mu district ye Mukono bakeeredde mu kiyongobero bwebasanze omuserikale omukuumi owa kampuni ey’obwannannyini ategeerekese nga James Tumwebaze Okira ng’afiiridde mu nnyumba mwabadde asula.
Abatuuze bategeezezza nti ono abadde ne munne Peter Odomel bwebabaddenga basula wabula ng’entakera babaddenga bagugulana olutata ekiraga nti ye yamusse ye neyeemulula.
Aduumira poliisi e Mukono Ibrahim Batasi akakasizza okuttibwa kw’omusajja ono nga n’okuwenja omutemu bwekugenda mu maaso.
Kivvuunuddwa Charles Kizindo
Photo Credit: World Atlas