OMUMULI GW’EBY’ENNONO-KIBUUKA

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Kazooba olwa Bbalaza,ennaku z’omwezi ziri 17th omwezi guno ogwa Kasambula Ogw’omusanvu.

Leero njagadde twogere ku nnono z’erinnya Kibuuka.

Erinnya lino lyatandikira ku Musajja Kyobe mutabani wa Wannema abaabeeranga e Ssese mu Bizinga.

Erinnya Kibuuka,Kyobe yaliggya ku ngeri gyeyajjamu ku lukalu ng’ava e Ssese,banne bwebaali baamusaba asaabale nabo mu lyato n’agaana era n’abasaba basaabale bagende.

Kalyesubula ne banne bagenda okugoba ku lukalu nga Kyobe mutaka wajjo nebeebuuza nti’’ Ono abuuse bubuusi?’’ weyaggya erinnya Kibuuka.

Kibuuka yasimba ekitooke nga y’akagoba ku lukalu e Nsamu ku mwalo Mulindi.

Kino olwassa abanyolo nebagenda bayunjeeko ettooke,Kibuuka olwabalaba n’atanula okulwana nabo okutuusa lwebaamutta.

Ku kitooke kino Abaganda baggyako olugero nti ‘’ Oli kalunsambulira nga Kitooke kya Kibuuka’’.

Kibuuka ono era y’amanyiddwanga Kibuuka Omumbaale eyalwanirako Nakibinge Omulwanyammuli mu lutalo n’Abanyolo.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO-SSAABADDU,SSAABAGABO,SSAABAWAALI NE MUSAALE

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Nagawonye olw’okutaano,ennaku z’omwezi ziri 7th omwezi guno ogwa Kasambula Ogw’omusanvu.

Leero njagadde tutangaale ku mannya g’ebitiibwa byozze osomako mu kawaayiro kaffe kano okuli;Ssaabagabo ,Ssaabaddu,Ssaabawaali ne Musaale.

Ebitiibwa oba amannya gano byaweebwanga bakulu abamu ku b’amasaza ga Buganda okugeza;

Kaggo afuga Bulemeezi ewaffe mu Balyannaka ye Ssaabaddu wa Buganda nga Ssaabaddu kitegeeza y’afuga abaddu bonna oba abasajja ba Kabaka.

Mukwenda afuga essaza lye Ssingo ye Ssaabagabo w’Obuganda akuuma engabo ya Kabaka Kamanyi.

Ssekiboobo afuga essaza lye Kyaggwe ye mukulu w’abaddu bonna abawuulu edda abaayitibwanga Abawaali era ye Ssaabawaali.

Kayima afuga essaza lya Mawokota ye Musaale eyakulemberangamu olunyiri lw’abalwanyi ba Kabaka nga bagenda okutabaala bwatyo n’asigaza obwa Musaale.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO: OLUSOZI BBOWA,SSEBBOWA NE NNABBOWA

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Kazooba olwa Bbalaza ennaku z’omwezi ziri 5th omwezi ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga.

Mu kawaayiro kaffe kano ak’Omumuli gw’eby’ennono njagadde leero tutunuulire amannya agaatuumibwanga abaana olw’ebifo gyebaazaalirwanga.

Abaana ab’obulenzi abaazalirwanga okumpi n’olusozi Bbowa mu Bulemeezi baatuumwanga Ssebbowa ate ab’obuwala ne batuumwa Nabbowa.

Ssempa ne Nampa nago gaatuumwanga mu Bulemeezi abaana abaazaalirwanga okumpi n’olusozi Ssempa era mu Bulemeezi okuliraana omugga Lwajjali ne Lumansi.

Sseggalye ne Naggalye nago gaatuumwanga abaana abaazaalirwanga ku mutala Sseggalye era ogusangibwa ewa Kangaawo mu Bulemeezi.

Ssettimba ne Nattimba nago gaatuumwanga abaana abaazaalirwanga okumpi n’omugga Ttimba oguli mu butaka bw’abe Ffumbe e Bulamba mu Bulemeezi.