OMUMULI GW’EBY’ENNONO-ESSAZA BUDDU-KAJABAGA

Olwa leero lwa Walumbe Olw’okubiri,ennaku z’omwezi ziri amakumi 30th omwezi guno ogwa Muzigo Ogw’okutaano.

Mu kwaayiro kaffe ak’Omumuli gw’eby’ennono leero tutunuulidde essaza Buddu.

Lino lyali ttwale lya Bunyoro nga lyawangulwa Ssekabaka Jjunju oluvannyuma lw’okumanya Obugagga bw’ente obwaliyo.

Kabaka Jjunju bweyali n’abatabaazibe nga badda e Buddu mu lutabaalo olwo baasanga akadde akazibu okusomoka Omugga Katonga.

Kabaka n’abalwanyibe baba bakyabuliddwa amagezi agasomoka nebalaba omusajja Kajabaga ng’asomoka Katonga ng’adda gyebaali.

Kabaka Jjunju yayita Kajabaga abalagirire bwasomose era n’abalaga akawenda webaayita ng’abakulembeddemu okubatuusa e Buddu nga tamanyi nti asindikidde Buddu balwanyi ba Buganda abagenda okubawamba.

Abanyoro baagezaako okulwanyisa Kabaka Jjunju nebalemererwa n’abawangulako Obuddu era bannabuddu ku musajja ono Kajabaga kwebaggya enjogera egamba nti’’ Akabi tekabula musombi Kajabaga yasomba Abaganda’’.

Atwala essaza lino ye Pookino ng’erinnya lino Kabaka Jjunju yaliggya ku mukulu eyali atwala ekitundu kino ku lwa Bunyoro eyamanyibwanga nga ‘Pookino’ nga n’awaali embuga ya pookino Omunyoro weewaateekebwa n’eya Pookino Omuganda.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO :Erinnya ly’Ow’essaza lya Ssaabasajja Kabaka erya Ssese erya Kweba

Leero lwa Kiwanuka Olw’okuna,ennaku z’omwezi ziri 18th omwezi ogwa Muzigo Ogw’okutaano.

Mu kawaayiro kaffe kano ak’omumuli gw’eby’ennono leero tutunuulidde ennono y’erinnya ly’Ow’essaza lya Ssaabasajja Kabaka erya Ssese erya Kweba.

Ebyafaayo bya Buganda bigamba nti omukulu w’essaza lino eyasooka yayitibwanga Ssese era yabeeranga ku kizinga Buggala eyo mu Ssese.

Kigambibwa nti Ssese ono yali musajja mumpinnyo gwoyinza okuyita ‘Mumpyatundakwakyeya’ era nga mulwanyi nnyo kale yalina Engabo nga bwagikwata emubikkira ddala yenna.

Ono buli lweyagikwatanga nga kyenkana akwebera bukwebezi muyo,wano webaava ne bamukazaako ‘Nkwebe’ olw’okukwebereranga mu Ngabo ye.

Abataka buli lwebaabanga boogera ku Sseze bweyabanga ajja gyebali nga bagamba nti ‘Nkwebe wuuyo ajja akwebera’ olw’obumpibwe.

Tebaggya okwo erinnyalye erya Ssese nebalyerabirira ddala n’ayitibwanga Kweba n’olwa leero,olwo erirye erya Ssese neridda ku bizinga byonna ebyetoolodde Buggala.

Wabula erinnya lyetwogeddeko waggulu awo erya Nkwebe lyo lituumwa mu kika ky’ab’Emmamba wewaawo nga liggwaayo Nkwebere.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO: Olwa leero lwa Kazooba

By Mzee Charles Kizindo

Olwa leero lwa Kazooba olwa Bbalaza ennaku z’omwezi ziri 15th omwezi ogwa Muzigo Ogw’okutaano.

Okuva edda n’edda Omuganda azze yettanira okunonya Ssente kyetuyita ekigulira Magala eddiba.

Engeri abaana baffe gyebali mu luwummula ka tubayigirize amannya ge tuyita Obuvangata bw’ensimbi obw’enjawulo.

Obw’olukumi lukumi kkumi gubeera mutwalo gwansimbi.

Obw’omutwalo mutwalo kkumi gyetuyita emitwalo ekkumi mu luganda ke Kasiriivu.

Emitwalo ekikumi ke tuyita Akakadde k’ensimbi kamu.

Obukadde bw’ensimbi buno bwebuwera lukumi kabeera Kawumbi kalamba.

Obuwumbi bwebuwera lukumi kabeera Kase kamu.

Olwo Obuse bwebuwera lukumi ne kafuuka akatabalika.

Weeekuumirenga ku mukutu gwa Beat FM Ekintabuli ky’omuziki.