OMUKWANO MU NKUZA Y’ABAANA KIKULU NNYO

Mu mawulire g’ensonga z’abaana n’ekitongole kya UNICEF,abazadde bakubiriziddwa okukulembezangamu omukwano mu kukuza n’okugunjula abaana baabwe n’ababeera mu mikono gyabwe ku lw’obulungi bw’obulamu bwabwe obw’omu maaso n’eggwanga lyabwe.Omusasi waffe asisinkanye omukwanaganya w’emirimu gy’okuyigiriza abaana abato eddiini (Sunday School) mu Kanisa ya St James Nakirama Church of Uganda eri wansi w’obusumba bwe Mugongo mu Busaabadinkoni bwe Nateete Antie Elizabeth n’amutegeeza nti Ekyasa ky’okukambuwalira abaana ekiyitiridde kyaggwako abaana ssi bisolo nti balundwa na miggo wabula okubuulirirwa n’okulaga eby’omu maaso awatali kubakubira bitaliimu. Ono asabye abazadde okukuliza abaana mu ddiini ku lw’ensi etalibaamu ntalo na kunenengana ate babayigirize enkwata y’ebintu ey’emirembe.