ABAZADDE BASABIDDWA OBUTAFUULA BAANA BUGOMA

Okutulugunyizibwa,okuboggolerwa ssaako okwolekezebwanga obukambwe ekiyitiridde mu buto kutataaganya enkula y’obwongo bw’omwana nga ne bwababeera akuze n’omwetegereza nnyo omulabamu ekimubulako.

Bwayogeddeko n’omusasi waffe,Omu ku ba Nnakazadde b’eggwanga Omumbejja Nakamanya Sarah kati alera bazzukulube ba Nnakabirye ategeezezza nti omwana bwakambuwalirwa ennyo akuliramu nnyo okwetya n’obutekkiririzaamu ekimuviirako oluusi okulemererwa okubaako kyayiga ob’oluusi ne kyakola ng’asuubira buli kadde kunenyezebwa kwokka.

Ono agamba nti abazadde basaanidde okulaga abaana omukwano ogw’ekigero baleme kubakambuwalira nnyo n’okubabonereza ennyo wabula ate baleme kubaleka kukula nnagalaale,babakangavvulenga wekiba kyetaagisiza.Omwana omu ku buli baana basatu ab’obulenzi ne bannyinaabwe ab’obuwala be batulugunyizibwa mu maka n’okusingira ddala bakazibaggya ba ba nnyaabwe.

ETTEEKA ERIRWANYISA OKUTULUGUNYIZIBWA ESSIRA LIRITADDE KU POLIISI

Abakwasisa etteeka erirwanyisa okutulugunya erimanyiddwanga Ant-Torture Law basabiddwa okukyusa endaba y’etteeka lino baliggye mu kwolekeza obwanga poliisi n’ebitongole ebirala eby’eby’okwerinda.

Christine Nanding amyuka ow’eby’eddembe ly’obuntu n’eby’amateeka mu ggye ly’eggwanga erya UPDF ategeezezza nti abakwasisa etteeka lino n’okusingira ddala abakungu b’ebitongole ebirwanirizi by’eddembe bwebataakyuse ndaba yaabwe na bwanga kubuggya ku bitongole bya byakwerinda bandiwunzika ng’etteeka libalemeredde okukwasisa.

Nanding ategeezezza nti abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu basaanidde bateeke ebitongole bino ku mwanjo mu kaweefube w’okulikwasisa baleke kutunuulira ate abaalibayambyeko mu kuliteekesa mu nkola.

Bino ono abyogeredde mu lukungaana lw’entegeeragana olutegekeddwa ekitongole ekiddaabulula n’okubudaabuda abatulugunyiziddwa ekya Africa Centre for Treatment and Rehabilitation of Torture Victims olugendereddwamu okutemera etteeka lino oluwenda lw’okulimanyisa bannayuganda.

Olukungaana luno lwerumu ku bikujjuko ebitegekeddwa ng’eggwanga lyeteekerateekera okwegatta ku mawanga amalala okukuza olunaku lw’abatulugunyiziddwa ng’ennaku z’omwezi amakumi 26th omwezi guno ogwa Ssebaaseka.