NABILAH ATABUKIDDE FDC

Omubaka omukyala owa Kampala Nabilah Naggayi Ssempala alagudde ku kibuyaga alabwa mu kibiina kyabwe ekya FDC bwategeezezza nti kibuyaga akyakitwalira ddala newankubaddenga enkyukakyuka zaakoleddwa.Nabilah ategeezeza nti kookolo asenkenya ekibiina aviira ddala waggulu mukyo ng’abanene abakituddemu tebaagalira ddala kuwabulwa baafuukadda ba Nnaluwali nga nnyinimu gwebaagereesa.

Ono asinzidde ku gumu ku mikutu emiyungabantu n’agamba nti embiranye eno yavadda okuva Gen Mugisha Muntu lweyeesimba ku Ret Col Dr Kiiza Besigye nti era kyava mu kubeera ekibiina ky’eby’obufuzi ne gufuuka omulimu gw’abamu.