OMUYIMBI GEOFFREY LUTAAYA SSENTE ZIMUWUNYIRA ZIIZI

Nga bannayuganda bangi ensimbi ebiro bino zibeekubya mpi nga n’abalala batambula boogera bokka olw’ebbula ly’ensimbi,ye omuyimbi Geoffrey Lutaaya alabika zaalina zimubuzizzaako waaziteeka ng’atandise na kuzigoba.

Ow’olugambo waffe atutegeezezza nti mwanamulenzi Geoffrey Lutaaya alina ka poloti keyagula obukadde amakumi 40 gyebuvuddeko wano mu Makindye ng’omugagga abadde ayagala kukamusasula obukadde ebikumi 450 obwa ssente za wano Musajjamukulu Lutaaya n’amugobya ssenteze.

Kyewunyisa ng’ate kituufu ka poloti kano ssi keekali awalungi ennyo kyokka nnyiniko eby’okukatunda ‘Obusente Obuganda’ oba ‘Obugolo’ nga bwebuyitwa ensangi zino ssibyaliko.Tutegeezeddwa nti bbulooka eyabadde aleese ‘ddiiru’ nga bwebabyogera yaweddemu amanyi n’agenda ng’awotose byansusso.

BETTY MPOLOGOMA ANONYA ANAAMUBIITA

Omuyimbi ow’erinnya Betty Mpologoma ddaaki amaliridde n’ayatula nti omukwano gumusuza bubi olw’okubulwa amubikka atenga n’abaalimweyunidde olw’endabikaye balowooza aliko amubiita kyagambye nti kimuyisizzaako abasajja bangi beyaaliwadde omukwano nebamutenda bweyatuukirira.Mwanamuwala ono ategeezezza nti mu mazima yeetaaga omwami anaamuwasa nga naye mwetegefu okumutwala ewaabwe amwanjulire abazadde.

Mpologoma agambye nti abawagizibe baagala kumubuzaako waawummulira anti buli lwebamulabako bamubuuza mwami ng’abasinga balowooza nti akyatinkiza n’omuyimbi Travis Kazibwe amanyiddwa nga Dr Tee eyali mwamiwe okumala ekiseera.Mpologoma agambye nti Dr Tee yeefuniradda ekimyula ki-nkubakyeyo kyeyawasa era n’amwesonyiwa nga kati nnyabo waabwe ebiro bino talina amubikka wadde amugumya weyandibadde yeetaagira omubeezi.

 

 

 

-Bukedde

EDDY KENZO AGENDA KWEGERA EMBAVU NE CHEMELEONE MU KORA AWARDS

Abanyumirwa emiziki gy’abayimbi abanene ababiri okuli aba Eddy Kenzo n’aba Jose Chameleon bukya lubanga lwa mmindi basobeddwa eka ne mu kibira.Abanene bano baalondeddwa mu kiti ky’emiziki kimu mu mpaka ezimanyiddwa nga KORA Awards ekisobedde abawagizi baabwe ku kiki ekinaddirira.

Abawagizi ba Chameleon bagamba nti oluyimba lwa Eddy Kenzo lweyatuuma ‘Zigido’ mu kulondebwa kwalyo tebeeyambisizza Vediyo yaalwo ntuufu abawagizi ba Kenzo kyebasambazze nga bagamba nti kuno kuwereba muntu waabwe nziro.

Enjuyi zombi zinonya buwagizi  wabula oluuyi olumu lulaba lwandisaanidde ekisinga kw’ekyo kyerwandifuna.Wabula bo baanabalenzi bano abayimbi babadde tebannayingizibwa mu nsonga zino weewaawo ng’era buli omu yeegwanyiza kuwangula munne.Guno gwe mulundi ogusoose baanabalenzi bano bombi okufaanana abatomeragana ssonga gyebuvuddeko enkolagana yaabwe ebaddenga tebuusibwabuusibwa.Mu kawaayiro ka Vedeo esinze mulimu Tiwa Savage ne Mr Flavour awamu n’abayimbi abalala.Empaka zino zaakubeerawo mwezi gwa Mugulansigo Ogw’okusatu mu ggwanga lya Namibia.

DAVID LUTALO OMWAKA AGUTANDISE NA ‘MANYA’ MU KIVVULU KY’OMWAKA

Omuyimbi ow’erinnya David Lutalo omu kubayimbi abalina amaloboozi  agakira ennanga amalirizza enteekateekaze ez’okutongoza olutambirwe olw’omunaana lweyatuuma ‘Manya’ mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okutandika n’ennaku z’omwezi amakumi 29th omwezi guno ogwa Gatonnya Ogw’olubereberye.

Ng’atandiikiriza okwesogga ekisaawe ky’okuyimba Lutalo yatandika n’akayimba akasuubirwa okuba nga kaazannyibwa kyenkana mu buli nnyumba wano mu ggwanga keyatuuma ‘Kapaapaala’ mu mwaka gwa 2008.Bannayuganda bangi abanyumirwa emiziki Lutalo bamwetaagako eddoboozirye erirabika obutafaanagana na lyamulala yenna ekimufudde omuganzi mu bibuga ne mu byalo mwanawattu neyeewangulira n’engule y’omuyimbi ow’embala mu mwaka gwa 2014.Abatunuulizi b’ebigenda mu maaso mu kisaawe ky’okuyimba mwanamulenzi ono bamuteeka mu biti eby’enjawulo;abamu bagamba nti ayimba Kadongokamu omulongooseemu olw’ekitone ky’eddoboozirye erikyukira mu mbeera yonna nerigyayo abalala bagamba nti ayimba RnB abalala nti Afro Beat n’abalala nti Reggae.

Ennyimba za mwanamulenzi Lutalo ng’oziwadde obudde oziwuliramu ebintu eby’omu bulamu obwa bulijjo omuli okulya obulamu n’okukyakala (Kapaapaala) enneeyisa y’abantu n’okuboola bannaabwe (Batusosola) enkwe mu bantu (Nandikulese),ennyimba ez’ennaku (Engumba zange) n’endala nnyingi ezitayawukana na bulamu bwa bulijjo.Ku lutambirwe olukyasembyeyo,Lutalo ayimbidde wamu n’abayimbi abalala ab’amannya nga;Eddy Kenzo,Bebe Cool,Radio ne Weasel aba Good Lyfe n’abalala.Mu lutongoza lwali mu kuboobeza ensangi zino Lutalo agenda kuwerekerwako abayimbi abalala bangi okuli baayimba nabo mu kibiinaakye ekya Da Hares,Bebe Cool,Bobie Wine,Radio ne Weasle,King Saha,Eddy Kenzo,Iryn Ntale,Cindy,Grace Nakimera,Coolerman n’abalala bangi.Lutalo okutongozakwe kuno akuggyirako akawuuwo ku wooteeri ya Africana wano mu Kampala nga 29th omwezi guno mu kifo wennyini weyatongoleza olutambirwe olwa ‘Akantu’.