ABAAWAGIRA MUSEVENI BAGOBEDDWA KU TTAKA LY’EBIBIRA

Abataka abasoba mu bikumi 300 ababadde bawangaalira ku kitundu ky’ettaka ly’ebibira erisangibwa ku kyalo Mbale mu ggombolola ye Butuntumula mu district eye Luweero ge bakaaba gebakomba oluvannyuma lwa poliisi leero okumalirira okubasengula ku ttaka eriwerako yiika ebikumi 200 kwebabadde ebbanga erisukka mu myaka amakumi ataano.

Ow’eby’okwerinda ku kyalo kino Kabira Wilson ategeezezza nti poliisi eyiiriddwa olwa leero erabika egendereddwamu kubagobera ddala ssonga ettaka lyonna babadde tebalikozesa wabula baliko katundu butundu ke babadde bakolerako n’okuwangaalirako.Kinajjukirwa nti Omubaka omukyala owa Luweero Yinginiya Lilian Nakate Sseggujja yasabye abataka bano okuguminkirizibwa baleke kusindiikirizibwa ng’abatali kwabwe baveeko nga bamalirizza okukungula ebirime byabwe.

MUSEVENI AGGYIDDEKO NYERERE ENKOOFIIRA

Kabwejungira Yoweri Museveni  atenderezza eyaliko omukulembeze w’eggwanga lya Tanzania Julius Kambarage Nyerere ng’eyali omuddu wa Katonda atasangika ate eyayagala ennyo Ssemazinga ono ng’ayita mu kulwanirira emirembe n’obumu.

Kabwejungira asinzidde mu kusabira mwoyo gwa Nyerere ku biggwa by’abajulizi e Namugongo n’ategeeza nti Nyerere asaanidde ekitiibwa n’ettendo ebimuweebwa olw’eddiini ennyingi gyeyalina.

MUSEVENI AVUDDEYO KU MASIMU,MUGAZZEEKO

Ddaaki Kabwejungira Museveni alagidde okuwandiisa amasimu kwongerweyo ekiseera okusinga okufiiriza n’okukaluubiriza bannayuganda ekyenkaniddaawo.

Museveniategeezezza nti bwasisinkanye ababaka ab’akabondo ka NRM asabiddwa awulire emiranga gya bannayuganda abangi abaggyiddwako bwatyo n’asalawo kwongezebweyo okutuusa nga 30th omwezi ogwa Muwakanya Ogw’omunaana omwaka guno wabula n’asaba bannayuganda enteekateeka eno bagitwale ng’ekikulu.

PRESIDENT MUSEVENI ALI MU AMERICA MU LUKIIKO LWA UN

Omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni mutaka mukibga NewYork ekya America okwetaba mulukungana lwekibiina kyamawanga amagate olwa 71 olugendereddwamu okutesa kubirubirira byokukyusa ensi eno.ttabamiruka wekibiina kyamawanga amagate atula buli mwaka nga yetabwamu abakulembeze bamawanga,aba govt  nabebitongole byenjawulo nekigendererwa ekyokumalawo ebizibu ebisomoza amawanga gonna.

Mubisubirwa okutesebwako mwemuli nensonga yabaononyi bobudaamo,enkyukakyuka yembeera yobudde,ebirubirira byekyasa,okunyweza ebyobulamu wamu nomwenkanonkano.

President Museveni asubirwa okwogerako eri abakulembeze bamawanga gobuvanjuba bwa Africa nabkungu nolutula olugenda okukubirizibwa minister wamerica owebyobusubuzi.

Ono oluvanyuma wakwegata kubakulembeze abalala okwetaba muttabamiruka aqgendereddwamu okwogera kunsonga zabanonyi bobudaamo  nga lutegekeddwa omukulembe\ze weggwanga lya America Kaduggala Hussein Barack Obama nabakulembeze abala.

Kivvuunuddwa Zirimala Daudi

 

PRESIDENT MUSEVENI AYAGALA ABAZUGU BONGERE OKUSIGA ENSIMBI MU AFRICA.

Omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni awanjagidde amawanga ga Bulaaya okwetanira olukalu lwa Africa okukolerayo business nga basiga ensimbi kubanga akatale kakula buli kadde.

President Museveni nga ali mukibuga Paris ekya Bufaransa kulukungana lwebyobusubuzi gyasisnkanidde ababaka bamawanga nabategezza nti balina okutunda Africa emanyibwe e Bulaaya abasiga nsimbi bayo bagyetanire.

Museveni anyonyodde nti akatale ka Africa kagenda kagaziwa nga mukiseera kino abanu abawangalirayo kati bali akawumbi 1.2 kubanga bwekituuse abasiga nsimbi bakutunda ebyamaguzi ebyo byokka byebakoledde mukitundu kino awatali ekyo tebalina katale.

Kivvuunuddwa Zirimala Daudi

 

ABE KYENGERA BALANGIDDE MUSEVENI KU DDAGALA MU MALWALIRO

Abatuuze mu kabuga ke Kyengera akasangibwa mu ggombolola ye Nsangi mu district ye Wakiso ku mwasanjala ava e Kampala okudda e Masaka bategeezezza omukulembeze w’eggwanga lino YKM7 nti eddwaliro lye balina mu kitundu kino teribangamu ddagala buli lwebagenda okujjanjabwa era baakimanyiradda nti abasawo buli lwebagendayo babasindika kugula ddagala mu bulwaliro obw’obwannanyini obungi mu kitundu kino ate obuseera eddagala ekiyitiridde.Bino babimutegeerezza mu kisaawe ky’essomero lya Summit erisangibwa okumpi n’akabuga kano bwabadde abaperereza bamuyiire akalulu akanaamuzza mu ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga lino.

MUseveni  bwavudde e Kyengera yeeyongeddeyo e Butambala n’empigi era gyakubye enkungaana ez’enjawulo.Eruuyi eno M7 abavubuka abasuubizza emirimu ate n’agugumbula n’ebitongole ebiwola abantu ensimbi nebiwunzika nga bibanyazeeko eby’obugagga bwabwe byagambye nti amangu ddala ng’azze mu ntebe emuleebuukanya waakubikwatako alabe nga tebiddamu kumalako bataka gya Nakakaawa.Omusasi waffe Nsereko Balikuddembe atutegeezezza nti M7 kakuyegewe yamutandikidde mu kabuga ke Kibibi wuuyo Buwama n’asembyayo e Mpigi n’olukungaana olunene.

EBYA NTV NE KAKUYEGE WA MUSEVENI BIRANZE

Telefayina ya NTV esibiddwako ebyayo n’egaanibwa okuddamu nate okukwata amawulire ga Kakuyege wa Kabwejungira Yoweri Kaguta Museveni lwabigambibwa nti erabika erina ekkobaane n’abataagalira ddala Kabwejungira okutuusa ng’eddiddwamu ssinakindi ng’etereezezza mu nkola yaayo mu kiseera kino ekya Kakuyege.

Akulira Kakuyege wa Yoweri Kaguta Museveni, Mike Ssebalu ategeezezza nti abasasi b’amawulire mu Telefayina eno baaganye okukkiriza ebifananyi ebibadde bibaweebwa bannamawulire b’enkambi ya Kakuyege wa  Museveni ebiraga obulungi obuganzi omuntu waabwe bwalina mu bantu nebasalawo okukozesanga ebyabwe byebeekwatira mu ngeri etali nnungamu era ebiragira ddala omuntu waabwe nti ayenjebuse mu buwagizi ne mu buganzi mu bannansi ekintu bano kyebagamba nti kiba kibi eri omuntu waabwe naddala mu kaseera nga kano aka kanaayokyani.

MUSEVENI ASUUBIZZA BUSOGA OKWAKAAYAKANA

Ababaddenga babba eddagala okuva mu malwaliro ga Gov’t nebamala basigala nga balya butaala awamu n’okuleeleetanga ku luno bubakeeredde oluvannyuma lw’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okulagira bano bakwatibwe mu bwangu ddala era basimbwe mu mbuga z’amateeka n’oluvannyuma nga gibasse muvvi basibwe.

Bwayogeddeko nebannamawulire abakakkalabiza mu ttundutundu lya Jinja Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nti ebyo byonna ebizzenga biremesa bannayuganda okweyagalira munsi yaabwe awamu n’ebibaddenga bibalemesa okwekulaakulanya waakubinogera eddagala.

Yoweri Kaguta Museveni asuubizza okukola ku mbeera y’amakubo gonna mu ttundutundu lino era n’agamenya awamu n’okubateerawo embeera ekulaakulanya eby’obulimi,eby’amakolero amatono n’amanene awamu n’okudduukirira eby’enjigiriza eri abataka mu Busoga n’emiriraano.

Olukungaana luno lutegekeddwa Kabwejungira bw’abadde afundikira kakuyegewe mu ttundutundu lya Busoga ng’obwanga obuddirira waakubwolekeza Bugwanjuba bwa ggwanga n’oluvannyuma alifundikira n’amasekkati g’eggwanga.