BATEGESE OKUDDUUKIRIRA MAKERERE N’OBUWUMBI

Bannamakerere abalumirirwa Ssettendekero ono ddaaki beekozeemu omulimu oguteekateeka emisinde emibunabyalo mwebagenderedde okukunganyiza ensimbi Obuwumbi 15 bwebaagala okweyambisa mu kuzimba Makerere University Students’ Centre.

Bano baagala ekifo kino okubeeramu kalonda yenna okwo kwossa ekisenge galikwoleka ekirituuzanga abantu abasukka mu nkumi ebbiri.Dr Nakayiwa Florence ow’eby’enteekateeka ategeezezza nti nteekateeka eno etuumiddwa ‘’Run for your campus’’ yaakubeerawo nga 14th omwezi guno.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo Credit: Makerere University

KYANSALA WA MAKERERE AKKIRIRIZZA MU KAKIIKO KA MUSEVENI

Amyuka Senkulu wa Ssettendekero wa Makerere Kakensa John Ddumba Ssentamu alaze essuubi mu kakiiko akaateereddwawo Kabwejungira Yoweri Kaguta Museveni okutaganjula n’okwetegereza ensonga za Ssettendekero ono.

Ddumba Ssentamu ategeezezza nti kyamazimaddala akakiiko kano ak’abantu omwenda akakulemberwa Abel Rwendeirwe kandinogera eddagala ebizibu bya Ssettendekero engeri gyekaliko abakyala n’abasaja enkwatangabo ate abakugu mu kunonyereza.

Photo: Red Pepper Uganda

MUSEVENI ATANDISE KU NSONGA ZA MAKERERE

Kabwejungira Yoweri Kaguta Museveni alonze akakiiko ka bantu mwenda akagenda okutaganjula ensonga za Ssettendekero wa Makerere balabe kalunsambulira agiviiriddeko obutaggwangamu bwegugungo bwa basomesa n’abayizi.

Kitegeezeddwa nti akakiiko kano kaakutaganjula alipoota zonna ezizze zikolebwa ku nsonga za Ssettendekero ono okwo ssaako okuleeta ebirowoozo ebiggya n’okusemba emitendera emirala eginaatebenkeza Ssettendekero.

Akakiiko kano akakulemberwa Dr Abel Rwendeire n’amyukibwa Omulamuzi Keturah Katungukah ate abalala nekubeerako Hon Tim Lwanga,Dr Florence Muranga,Dr Proscovia Namubiru,John Muwanga,Dr Paul Musaasizi n’abalala.

Abakungu bano balagiddwa okutandikirawo mbagirawo banonyereze ku mbeera za Ssettendekero ono.

Photo: Google Play

ABAYIZI BAGALA ABASERIKALE ABATULUGUNYA OBUBIZZI OBWASULIBWA KU PALAMENI BAVUNANIBWE

Abayizi ku ssetendekero wa Makerere abasoma ebyebisolo aba Makerere University Veterinary Students bavumiridde nnyo enkwata poliisi ya Uganda gyeyakwatamu obubizzi obwasulibwa ku palamenti abavubuka abatalina mirimu gyebuvuddeko.

Bano mukibiina kyabwe ekibataga bagala poliisi ebalage wa gyeyatereka obuberege buno nembera gyebulimu kubanga poliisi yabuyisa bubi.

Bwabadde ayogerako nabamawulire omukulembeze wabayizi bano Nelson Bukumba ategezezza nti bakolondoola nokuvunana omuntu yenna atulugunya ebisolo naddala abaserikale ba poliisi ababusambasamba.

Ono era alabudde abalunzi bebisolo naddala aba zilufuula okwewala okutambuza ebisolo kummotoka mungeri ebityoboola.

Kivvuunuddwa Zirimala Daudi

Photo: www.redpepper.co.ug

EZAAWEEBWA ABABAKA ZIKYASIIWA BANNAYUGANDA

Obuwumbi bwa ssente za wano obubiri Gov’t bweyateeka mu kibinja ky’ababaka mu lukiiko lw’eggwanga ensanvu okugenda mu lukungaana ttabankalu olwa America neruno olwa Ssemazinga wa Africa negyebuli eno bukyayogeza bannayuganda ebisongovu awamu n’okwebuuza ebibuuzo entakera.

Omu ku babanguzi mu bbanguliro ly’eby’amateeka mu Ssettendekero wa Makerere Robert Kirunda ategeezezza nti kyamazima ddala Gov’t eno bwegutuuse mu kulonda ebintu ebigasa bannayuganda ebyetaagisa okuteekamu ensimbi wano yagudde n’enkoona n’enywa.

Kinajjukirwa nti ababaka baagendera mu ttuluba ly’abakungu mu nnyonyi ya Emirates Airlines ng’akawumbi kalamba n’ekitundu awo tekaalutonda ng’omukubiriza awamu n’omumyukawe buli omu yaweebwa Obukadde bubiribubiri obwa buli lunaku n’ababaka buli kakadde kalamba kalamba ng’ensako Robert Kirunda waasinzidde n’agamba nti kino abaakisalawo tebaabalirira bawi ba misolo beerowoozaako bokka ng’abantu.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

EBYA AARON BAGUMA BIKYUKIDDE BA LUGANDA LWA KATUSHABE

Omu ku bannamateeka ab’amannya mu Kampala era omu ku babanguzi baago mu Ssettendekero wa Makerere Robert Kirunda ategeezezza nti bafunye amawulire okuva mu b’oluganda lw’omukyala eyali nneekoleragyange w’omu Kampala Donah Katushabe nga gagamba nti bateekeddwako akazito batalize eyaduumiranga poliisi y’ekitebe ky’amasekkati ga Kampala Aaron Buguma baleme kumulumiriza ng’omu ku batemu abeenyigira mu kutta omuntu waabwe.

Aaron Baguma awerennemba na misango gyakwenyigira mu ttemu ly’omukyala ono Donah Katushabe eyattibwa mu mwezi gwa Mukulusabitungotungo Ogw’ekkumi omwaka oguwedde mu bigambibwa nti yatulugunyizibwa nnannyini kibanda kya mmotoka ekya Pine Mohammad Ssebuufu n’abalala omugambibwa okuba ne Aaron Baguma ayogerwako.

Robert Kirunda ategeezeza nti kino ate kiba kikyamunnyo kubanga kuba kulinnyirira ddembe lya baaluganda na kubalemesa kufuna nsala ntuufu mu musango guno.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: www.monitor.co.ug

ABASOMESA MU MAKERERE BASABIDDWA OKUYIMIRIZA AKEEDIIMO

Gov’t esabye abasomesa mu Ssettendekero wa Makerere bagire nga bayimiriza mu keediimo kaabwe kebabadde bateekateeka  okuteekawo oluvannyuma lw’emisaala gyabwe okulwisibwawo nga bwebaalangiridde olunaku olw’eggulo.

Bwayogedde ne bannamawulire wali ku Ssengejjero lyamawulire mu Kampala,Minister avunanyizibwa ku nsonga z’abakozi ba Gov’t Muruuli Mukasa ategeezezza nti Gov’t ezze eyogereganya n’abasomesa bano awamu n’olukiiko oluddukanya Ssettendekero eno ku nsonga z’emisaala gyabwe era ng’entegeeragana zino zikyagenda mu maaso bwatyo n’abasaba baziwe akadde weesanga zinaavaamu ebibala.

Kinajjukirwa nti emisaala gy’abasomesa bano egy’omwezi ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga omwaka guno n’okutuusa leero teginnabasasulwa ng’entabwe evudde ku Gov’t okubeera ng’ekyategeeragana ne zi Ssettendekero endala era ku nsonga ze zimu mu kaweefube agendereddwamu okulungamya ensonga z’emisaala gino omulundi gumu.

Abasomesa bano olunaku lw’eggulo baatiisizzatiisizza okussa wansi ebikola ssinga ensimbi zaabwe ezikunuukiriza Obuwumbi Omwenda tezibaweebwa mu bwangu ng’enkalira zebaalina baategeezezza nti bazimazeewo atenga abaddukanya Ssettendekero babanjalira ngalo nga muwabutwa asigadde awali omulwadde.


Photo: www.theworldfolio.com

KIZIMBE E MAKERERE KISSE OMU ,NKUMU BAKYANONYEZEBWA

Omuntu omu akakasiddwa okuba ng’afiiridde mu kizimbe kya Kalinaabiri ekibadde kikyazimbibwa wano e Makerere ekibaddeko emyaliiro egiwera ekibumbulukuse nekigwa kyonna mu maaso g’ebbanguliro lya bannamateeka nga waakayisa ekizimbe ekimanyiddwanga Ham Towers.

Agavudde ku kizimbe kino gategeezezza nti abadduukirize baakaggyayo abantu mukaaga ababadde bakyalimu akalamu nga bano baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu erye Mulago abasawo batandikiraawo. Twogedde n’omu ku bantu ababaddewo ng’ekizimbe kyakagwa Kisekulo John n’atubuulira bwegubadde mu budde obwo nga kyakagwa.

Ono atutegeezezza nti ekizimbe kino engwa gyekiguddemu tetegeerekese kubanga abakibadde okumpi balabye bulabi kizimbe kyonna nga kikkamu engeri abakizimba gyebabadde baakakizimbako empagi zokka okuviira ddala wansi okutuuka waggulu.

Ye kaweefube w’okwongera okuyiikuula ebifunfugu by’ekizimbe kino okulaba obanga mukyalimu abantu abakyali abalamu akyagenda mu maaso ng’abeekitongole kya poliisi y’abazimyamwoto n’ekitongole ekijunyi ky’abali mu katyabaga ekya Uganda Red Cross byebiwomye omutwe mu nteekateeka eno.

 

SSETTENDEKERO WA MEKERERE ASSE KU BIGERE KU KY’EBISALE

Gavumenti eramula kuno esabye olukiiko oluddukanya Ssettendekero wa Makerere okusooka okuyimiriza mu tteeka ly’eby’ensimbi erimazeeko olusozi luno n’abayizi baamu emirembe era erizze livaako obusambattuko obuwulirwayo buli lukya abayizi nga beesuulamu jjulume okuwakanya etteeka lino lyebeekengeramu okulemesa bannaabwe okumaliriza emisomo gyabwe.Amyuka Ssenkulu wa Ssettendekero ono Kakensa John Ddumba Ssentamu ategeezezza nti bakkanyizza n’ekiragiro Gavumenti kyeyabawadde ekyabagambiddwa Ssaabaminister wa kuno Dr Ruhakana Rugunda eyasabye abayizi beewandiisenga nga bwebeeteekerateekera okusasula ebisale mu ssabbiiti ey’ekkumi n’ebbiri ng’olusoma luggwaako.

Kakensa Ddumba agamba nti abayizi basaanidde bakkakkane banonye ensimbi mu kiseera ekibaweereddwa okutuusa ng’ennaku z’omwezi amakumi 23th omwezi guno ogw’okuna ogwa Kafuumuulampawu.