KKANISA E LUWEERO ETUUZIZZA TTABAMASOMERO

Abasomesa mu masomero g’ekkanisa ya Uganda abakakkalabiza mu masomero agali wansi w’obulabirizi bwe Luweero obutwala district essatu okuli Nakaseke,Nakasongola ne Luweero olwa leero beevumbye akafubo n’Omulabirizi abatwala ow’Obulabirizi buno Kitaffe mu Katonda Eridaadi Nsubuga bamuumuunyemuumunye mu bizibu byebasanga mu mulimu guno awamu n’okwejjukanya gyebayise ebbanga ery’omwaka omulamba lyebamaze bukyanga baawukana.

Ssentebe w’abasomesa abakakkalabiza mu masomero gano Omulangira Jemba Kalema Enock ategeezezza nti basaanidde okusisinkanaga mukama waabwe Omusumba abasuma bonna olwo nabo basobole okubangulanga emiti emito n’emikisa awamu n’obuyinza bweyabakwasa.

OBUKADDE 69 BWABULIRA E LUWEERO MU BASOMESA AB’EMPEWO

Obukadde bw’ensimbi za wano 69 beddu bwebwasasulwa abasomesa ab’empewo mu myaka gy’eby’ensimbi 2013/2014 ne 2014/2015 mu masomero ga Gov’t ag’enjawulo mu district ye Luweero.

Alipoota efulumiziddwa akakiiko k’eby’ensimbi z’omuwi w’omusolo mu district eno eraze nti amasomero 12 galemereddwa okuwa ensaasaanya y’obukadde bw’ensimbi amakumi 42 obwabaweebwa wansi w’enteekateeka ya Bonnabasome mu masomero ga Primary ne secondary mu myaka egyo.

Ssentebe w’akakiiko kano Umar Musoke Maalo ategeezezza nti nabo basobeddwa eka ne mu kibira olw’ensimbi zino enkumu ezitamanyiddwako mayitire ssong’eby’enjigiriza eruuyi eno buli lukya byongera kufeeba newankubaddenga bipokerwamu ensimbi empitirivu.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: watchdog.org

OMUSUMBA WA KASANA LUWEERO ABAKUNZE KU KWAGALANA

Omwepisikoopi w’essaza lya Kasana Luweero mu ekerezia Katolika Kitaffemukatonda Paul Ssemwogerere abakristu abasabye okuttukiza omukwano gwa Kristo gweyasigira mu batumebe negweyabalekera bweyali agenda mu ggulu.

Bino abyogeredde mu kulambula kwabaddeko mu kibuga Wobulenzi bw’asisinkanye abakristu mu ssomero ly’ekerezia erya Wobulenzi RC PS erimanyiddwanga Sekka Nnusu n’abakubiriza obutasagaasagana mu nzikiriza yaabwe.

Omusumba Paul Ssemwogerere era akubirizza abakristu okukuumanga ekyambalo kyabwe eky’essaakaramentu erya Batiisimu nga kitukula.

Ye Mayor w’ekibuga Wobulenzi Omulangira Ssebalamu Moses Kayondo asiimye okulambulwa kw’omusumba okw’engeri ng’eno ng’emu ku mpagi eyinza okuyitwamu okwongera obukristu okusimba emirandira.

Ate ye akulira essomero Omusumba Paul Ssemwogere lyakyaddemu Luyombya Steven naye tayawukanye na kya Mayor Ssebalamu mu kutunuulira okuzza obukristu engulu obulwanagana n’eddiini endala empya ezimeruka ng’obutiko ebiro bino nga ne mu district y’oku muliraano e Nakaseke waliyo ekidiini ekyarangirira nga Yesu bwakomyewo.

Omusumba Paul Semwogerere aliko n’omuti gwasimbye ku ssomero lino mu kaweefube agendereddwamu okukuuma obutonde bw’ensi.


Photo: www.christianvoice.co.ug

NTAGALI ABUULIDDE POLIISI AMAZIMA KU NGUZI

Mu lunakulwe olw’okuna mu kulambula Obulabirizi bwe Luweero,Kitaffemukatonda Ssaabalabirizi wa Uganda Stanely Ntagali asabye abataka n’okusingira ddala abaserikale ba poliisi baasisinkanye ku kitebe kyabwe ekye Luweero abakubirizza okuziyiza obumenyi bw’amateeka,obulyi bw’enguzi n’ebirala.

Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu lya Savanna Lamek Kigozi ayogedde ku kukyala kwa Ssaabalabirzi ku kitebe kyabwe.


Photo: churchofuganda.org

ABATAKA BAWONYE OKULYA ENNYAMA ENSALIRE KU BINNYA BYA BUYONJO

Abataka mu ggombolola ye Katikamu ekisangibwa mu district ye Luweero bandifuna akamwenyumwenyu ku matama oluvavannyuma lw’abakulira eggombolola eno okumaliriza enteekateeka z’okubazimbira lufula ey’omulembe.

Bwayogeddeko n’omusasi waffe atusakira ageeruuyi eno,Ssentebe w’eggombolola eno Sam Sserunjogi ategeezezza nti bamalirizza okufuna ekifo kino mu ggombolola ye Busula webagenda okuzimba lufula gyagambye nti egenda na kuyambannyo mu kutumbula eby’obulamu eruuyi eno nga bangi ku bakinjaaje ennyama gyebabaddenga batunda ku midaala temanyiddwa gyebaddenga esalirwa.


PHOTO: www.monitor.co.ug

AMBULENCE ESSE BATAANO E LUWEERO

Entiisa ebuutikidde abatuuze mu kabuga ke Ngogolo akasangibwa mu district ye Luweero abaana bana bwebatomeddwa emmotoka ey’ekika kya  Gafeemulago (Ambulence) ebadde etwala omulwadde nebafiirawo mbulaga.

Bwayogeddeko n’omusasi waffe atusakira ageeruuyi eyo,Ssekwamwa wa poliisi mu ttundutundu erimanyiddwanga Savanna Lamek Kigozi ategeezezza nti abaana bano babadde batambulira ku pikipiki emanyiddwanga Ssenke n’ezikirira mu kkubo wakati wabula baba tebannagivaako gyezireetedde Ambulence ng’wenyuka buweewo ereeta mulwadde Kampala n’ebasaabala n’ebagoyaagoya.

Kigozi era ategeezezza nti abafudde kuliko;Mango Nakate 15,Mwajuma Namuddu 15,Makanga Zziwa 18 ne munnaabwe Ssennyonga Bonny 16 ng’okutomerwa babadde bagenda mu ndongo mu ebadde etegekeddwa mu kabuga kano Ngogolo.

Ye omulwadde abadde aleetebwa mu ddwaliro ekkulu erye Mulago naye akabenje kano ke kamunnyudde egy’ensi eno.

 

EMBWA EZIGUDDE EDDALU ZISENGUKIDDE LUWEERO

 

Abatuuze mu ggombolola ye Nnyimbwa mu district ye Luweero balaajanidde abakulu ku district eno babayambe ku ggana ly’embwa endalu ezaazinze ekitundu kyabwe ezitandise okubaliira ebisolo ebyabaweebwa Gov’t mu nteekateeka y’okweggya mu bwavu n’okuzzaawo amagana nga bwegaali ng’olutalo olwaleeta Museveni mu buyinza terunnabaawo.

Omusasi waffe Ssemwanga Lutaaya atusakira ageeruuyi eyo asisinkanye Omukubiriza w’olukiiko lw’eggombolola eno Fred Kasasa n’amusindira ennaku ebayonka Obutaaba era ng’embwa zino bwezibamazeeko ebisolo okuli;embuzi,endiga,embizzi,enkoko n’ebiyana binnusubulaaya byebabadde bagenda bayaza.

Photo: Photo: commons.wikimedia.org

BABIRI BASIRIKKIDDE MU MULIRO E LUWEERO

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ba Zone emanyiddwa nga Wampamba e Wobulenzi mu district ye Luweero enkya ya leero abaana ba mutuuze munnaabwe babiri bwebafiiridde mu muliro ogukutte ennyumba mwebabadde basula.

Omusasi waffe Ssemwanga Lutaaya atusakira ageeruuyi eyo atutegeezezza nti nnyina w’abaana bano abadde abeera nabo yekka ategeerekesenga Harriet Nnassozi akedde kugenda gyasiikira eby’okulya byatunda ku masomero n’aleka abaana bano mu nnyumba wabula ng’aleseemu akataala buno obwakazibwako Munakutadooba nga kaaka era baliranwabe be bamukoowodde ng’abaana bamaze okufiira mu muliro guno nga n’ennyumba yonna esaanyewo.

 

LUWEERO GAASIGALA MATONGO,NKUMU BAAFIIRIRA EGGWANGA LINO

Gov’t esabiddwa okubangula abavubuka abakola ekitundu ekinenennyo mu ggwanga lino ku bireeta emirembe weesanga kinaayambako mu kukendeeza obutabanguko mu ggwanga.Bwayogeddeko ne Beat FM Ekintabuli ky’omuziki ,Lt Hajji Sulayiman Serunjogi omu kubaazirwanako mu Luweero ategeezezza nti obutamanya bireeta mirembe mu ggwanga obufumbekedde mu bavubuka b’ensangi zino kizibu kinene gyeriri nga bangi balowooza nti emirembe giva mu kwekalakaasa na kusaba kukyusa bukulembeze byagambye nti tebiyamba okuggyako okulungamyanga ensonga nga bwezisaana okutambuzibwa.

Ono bino abyogedde waakayita lumu ng’eggwanga lijaguzza nga bwegiweze emyaka amakumi asatu bukyanga mbeera eyeekisasambulabbwa eggwa mu ggwanga YKM7 bweyawamba obuyinza okuva mu mikono gy’abakulembeze abagambibwa okuba nga baali bamazeeko bannayuganda eddembe.Kabwejungira Museveni yawamba obukulembeze bw’eggwanga lino ng’ennaku z’omwezi amakumi 25th omwezi ogw’Olubereberye omwaka 1986 oluvannyuma lw’olutalo lweyatandikira mu Luweero okumala ebbanga ery’emyaka etaano era olwaleka ebitundu nga Nakese,Ssemuto,Kapeeka,Masuuliita,Kiwoko,Makulubita n’ebirala nga matongo gennyini.

MINISTER W’EBY’ENJIGIRIZA AKUUTIDDE ABEEGASSI

Bannayuganda abeegassi mu bibiina by’obwegassi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo bandifuna akamwenyumwenyu ku mataka oluvannyuma lwa Gov’t eramula kuno okutandika kaweefube w’okubidduukirira ng’ebikakkalabiza mu district ye Luweero byo bisagambiza okukira akimezezza okw’enjala.

Omusasi waffe Ssemwanga Lutaaya atutegeezezza nti ebibiina bino biwerako ebigudde mu bintu eruuyi eyo wabula abeegassi nebasabwa okweyambisa ensimbi zebafunye beekulaakulanye n’okusingira ddala ng’obwanga bwabwolekeza eby’obulimi ssinakindi n’eby’obulunzi.

Omubaka w’ekimu ku bitundu ebirimu ebibiina ebiganyuddwa mu nteekateeka eno Dr John Chrisestom Muyingo era minister omubeezi ow’eby’enjigiriza ebisookerwako aliko n’enteekateeka gyalangiridde ku ba Ssemugayaavu abafunye obuyambi buno ng’agambye atuuse okuyitanga n’empingu asibe bassemugayaavu abataagala kukola.