JIMMY LWAMAFA NE BANNE BASABA KWEYIMIRIRWA

Abakungu abasatu abaakoleranga mu ministry y’abakozi ba Gov’t okuli eyaliko Omuwandiisi ow’enkalakkalira Jimmy Lwamafa,eyakuliranga ababalirizi b’ebitabo Christopher Obey ne Kaminsona eyavunanyizibwanga ku nsonga z’obusiimo Steven Kiwanuka Kkunsa leero basuubirwa okulabikako mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi basabe okuddamu okweyimirirwa.

Bano essabbiiti ewedde baali baleeteddwa embuga wabula Amyuka omuyingiza w’emisango e mbuga Suzan Kanyange omusango n’agwongezaayo engeri abawaabi ba Gov’t gyebali mu kwekalakaasa.Bano bawererennemba na gwakwezibika Obuwumbi 15 obwali obw’akasiimo k’abaaliko abakozi bwebeekobaana ne Bob Kasango.

KABAFUNZAKI NE BASAJJABE BALI MU KKOOTI LEERO

Omulamuzi Margaret Tibulya owa Kkooti enkulu leero lwatandika mu butongole okuwuliriza omusango gwa minister w’ensonga z’abakozi Herbert Kabafunzaki ne banne okuli Bruce Lubowa ne Mugabo Brian.Omulamuzi Agnes Alum owa kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi ye yasindika Minister Kabafunzaki mu kkooti eno omwezi oguwedde.

Ono ne banne bawerennemba na gwakwekobaana mu kuggya kyojamumiro eky’Obukadde 15 ku nnannyini Kampuni ya Aya Mohammad Hamid.

EYASOBYA KU BAWALA N’ABATTA ALEMEDDE MU KKOOTI

Omusajja awerennemba n’ogw’okutemula baanabawala basatu abagambibwa okusooka okusobezebwako n’oluvannyuma nebaabuluzibwamu obulago Baker Walusimbi eyakwatibwa mu mwezi gwa Gatonnya Ogw’olubereberye omwaka 2006 addiziddwa ku alimanda e Luzira.

Ayingiza emisango mu kkooti enkulu Emmanuel Baguma ono amuzzizza e Luzira oluvannyuma lw’omulamuzi wa kkooti eno Yasin Nyanzi okubeera ku mirimu emirala emitongole e Nakasongola ssonga wayise ekiseera ng’abasengezzi b’ensonga embuga abaali mu mitambo gy’omusango guno tebakubikako kya Mulubaale.

BOBI WINE NE KAYIHURA BAKUBIDDWA MU KKOOTI

Omu ku bayaayaanira okukiikirira abantu ba Kyaddondo East mu lukiiko lw’eggwanga Nkunnyingi Mawanda awawaabidde omu ku bagenda okwesimbawo Robert Kyagulanyi Bobi Wine,Ssaabapoliisi wa kuno Gen Kale Kayihura n’akakiiko k’eby’okulonda olw’okulaga ekkobaane ku kutereeza enkalala z’abalonzi mu kitundu kino mu ngeri gyagamba nti emenya amateeka.

Mawanda agamba nti ssi kituufu kuganya Bobi Wine kuyingira mu nsonga zino atenga y’omu ku bayaayaanira ekifo kino.

BUS ZA PIONEER ZIRUGENZE

Kkooti enkulu eragidde Bus za Pioneer amakumi 26 ziriyirirwe nga Kantanyi w’okusasula ebbanja lya Bukadde 151 obubabanjibwa nneekoleragyange Charles Mushabe azzenga abawa ebyuma ebyeyambisibwa mu kuziddaabiriza emyaka ena emabega.

Bawannyondo ba kkooti aba Libra Auctioneers nga bakulembeddwamu Bonny Rwamukaaga wetwogerera bazingizza Bus 16 ku zino zebasanze ku kibangirizi kya Constitutional Square ng’essaawa yonna zaakutundibwa beesasule.

MAMBA ZEETOLODDE KKOOTI YA SSEMATEEKA

Eby’okwerinda binywezeddwa mu Kampala n’emiriraano n’okusingira ddala mu bitundu bya Nakasero mu kulindirira eyakwatira bendera ekibiina kya FDC mu kalulu k’obukulembeze bw’eggwanga lino Ret Col Dr Kiiza Besigye asuubirwa mu kkooti etaputa Ssemateeka eggulo lya leero wezinaawerera omwenda ez’eggandaalo.

Kitegeezeddwa nti Besigye olwa leero aleetebwa embuga ku byekuusa ku kuyisa olugaayu mu kiwandiiko kya kkooti ekyayisibwa amyuka Ssaabalamuzi wa kuno Steven Kavuma ng’amugaana ye nebannakibiina kino okugenda mu maaso n’okulaga obutali bumativu bwabwe.