ABAATULUGUNYIZIBWA KONY BAAKUGOBERERA KKOOTI

Kkooti y’ensi yonna etuula e Hegue mu Netherlands ng’ekwataganidde wamu n’ekitebe kya Denmark wano mu ggwanga batongozza kaweefube w’okutuusa ebigenda mu maaso mu kkooti eno eri abantu abaakosebwa olutalo lwa Mawale Yosefu Kony.

Bw’abadde atongoza enteekateeka eno,omuwandiisi wa kkooti eno Herman Von Herbal ategeezezza nti kino basazeewo bakikole oluvannyuma lw’okumanya nti abataka abaakosebwa beetaaga okubigoberera n’okusingira ddala eby’eyaliko omu ku baduumizi ba Kony awozesebwa mu kkooti eno Dominic Ongwen.

OMUYIGGO GWA KONY GUWEDDE,UPDF EKOMYEWO

Abajaasi b’eggye ly’eggwanga erya UPDF abaali baatwaliddwa mu ggwanga ly’amasekkati ga Ssemazinga ono erya Central African Republic ku muyiggo gwa Mawale Kony mu mwaka gwa 2012 ddaaki bamalirizza ogwabwe ng’abasoose okudda kuno batuuse olwa leero.

Abatuusiddwa mu ggwanga baggusiddwa Gulu ng’eno bakwasiddwa akulira ettabi ly’eggye lino ery’okuttaka Brig Katsigazi Tumusiime ne munne aduumira ekibinja ky’eggye lino eky’okuna Brig Emmanuel Kanyesigye.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

BATABANI BA KONY BATEEREDDWAKO ENVUMBO MU AMERICA

Gov’t ya America ddaaki etadde envumbo ku by’obugagga bya batabani ba Mawale Yosefu Kony babiri ebiri mu ggwanga lino ng’ebiro bino kawakuzi ono amazeeko emirembe abatuuze mu ggwanga lya Central African Republic.

Agavudde eruuyi eno gategeezezza nti eggwanika lya America wansi w’omukungu avunaanyizibwa ku kuteeka envumbo ku bintu byabalyake John Smith eby’obugagga byeboye kuliko ebya Salim ne Ali Kony nga ne bannansi ba America bawereddwa okuddamu okubaako emirimu gyebaddukanya nabo ng’envumbo yeemu yateekebwa ne ku by’obugagga bya kitaabwe Yosefu Kony kennyini mu mwezi gw’okusatu omwaka guno.

Kitegeezeddwa nti ababiri bano bazze bawulirwa mu nteekateeka z’eggye ly’abayeekera lino eriduumirwa kitaabwe Kony erimanyiddwanga LRA nga Ali Kony kigambibwa ye musika wa kitaawe mu byonna atenga bombi be bavunaanyizibwa ku by’empisa mu ggyerino.

Omu ku bano Salim Kony kigambibwa nti aliko n’abayeekera mu ggye lya LRA beyatta olw’obusiiwuufu bw’empisa bwebaalaga nti baagala kulekulira ggye lya kitaawe Kony.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: alchetron.com

OWA UPDF YASENGA MULAGO N’OBULWADDE KU MUTWE

Omu ku baalwanirira eddembe bannayuganda lyebeeyagaliramu olwa leero eyakolerako mu ggye ly’eggwanga erya UPDF alaajanidde eggye lino okumudduukirira ajjanjabwe awone obulemu bweyafunira mu mirimu gyeggye lino.

Bwayogeddeko naffe musajja wa akatonda ono Ediriisa Kamoga Number RA023658 kati eyabudamizibwa mu ddwaliro ekkulu erye Mulago n’ab’omu makaage bonna ategeezezza nti yafuna obuvune ku kawanga bwebaali mu kulwanyisa abayeekera ba Mawale Kony mu Bukiikakkono bw’eggwanga lino bweyali ku Radio Call ng’anonya amayengo agasaka amawulire mu lutalo weyali ayimiridde wamale wakubwe ekikompola ekyamuleetera okuyitwa amasannyalaze mu kawanga nekajjako olwatika.

Kamoga agamba nti yajjanjabwako naye n’atatereera ssonga n’akasiimoke bukyanga awummuzibwa agamba takafunanga atenga baabuwe n’ebibye byawambwa nnanyini nnyumba mweyabeeranga e Bbombo weyajjanjabirwako mu ddwaliro ly’amagye.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: www.monitor.co.ug

 

CENTRAL AFRICAN REPUBLIC ETIDDENNYO KONY

Abeepisikoopi mu ekerezia Katolika mu ggwanga lya Central African Republic balaze obweraliikirivu nti eggwanga lyabwe lyandiremererwa okutuula ku nfeete abayeekera ba Lord’s Resistance Army abaaduumirwanga Mawale Kony abattukiza ennumba zaabwe mu ggwanga lino nate.

Kinajjukirwa nti bakafulu mu kufeffetta abayeekera ggye ly’eggwanga erya UPDF nga bawanirwako bannaabwe okuva mu ggwanga lya America beesoggadda Central African Republic n’ekigendererwa ekiyiga basajja ba Kony bano ne Kony kennyini wabula musajja wa Katonda Omwepisikoopi Nestor Desire Nongo Aziagbia agamba nti embeera efuukidde ddala ya lukonvuba abayeekera bano bakyagendera ddala mu maaso n’okulumba ebyalo nga babiteekera omulimu awamu n’okuwamba bassaalumanya.

KONY ASITUDDE ENKUNDI MU CENTRAL AFRICAN REPUBLIC

Omwepisikoopi omu mu ggwanga lya Central African Republic alabudde ku kwezza obuggya kw’abayeekera ba Lord’s Resistance Army abaaduumirwanga Mawale Yosefu Kony.Omwepisikoopi ono ow’ekerezia Katolika Kitaffemukatonda Nestor Desire Nongo-Aziagbia ategeezezza nti abayeekera bano baliko ekigo ky’abaminsani ekisangibwa mu Ssaza ly’ekerezia erye Bangassou kyebaalumbye nebalirika emigobante abakiristu n’ababiikira Bannansi ba Latin America bebaakisanzeemu n’oluvannyuma nebababbako ensimbi,emmere n’eddagala lyabwe.