ABAKOZI MU KKOOTI BAVUNAANWA BUKENUZI

Abakungu ba kkooti y’omulamuzi we Nakawa babiri basuubirwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi olwa leero nga balangwa kuggya kyojamumiro ku muntu eyali ayagala omusangogwe okuwulirwa.

Bano baakwatwa ku lwa Kazooba ssabbiiti eno abakungu okuva mu woofiisi ya Kaliisoliiso wa Gov’t ng’ekyojamumiro ekyabazaalira ebyeru Makaayi byazaalira ensiko kya mitwalo amakumi 350,000.

ABAAZALA NGA BASALIDDWA OBUSEKE BASIBIDDE MU KKOOTI

Abafumbo abatasiba zikweya bawazeewaze ekitongole kya Marie Stopes eky’eby’enkola z’ekizaalaggumba okukkakkana mu mbuga z’amateeka nga nnabe yava ku musajja kusalwa buseke ate mukyalawe n’afuna erya Mugema n’okuzaala n’azaala.Ababiri bano Jackson ne mukyalawe Mary Okiring bagamba nti omukozi w’ekitogole kino mu ttabi ly’e Mbale yabamatiza nga bwebataliddamu kuzaala mwana amangu ddala nga bamalirizza okukolebwako.

Bano mu mpaaba gyebaateeka embuga kigambibwa nti baakasaasaanya Obukadde bubiri n’ekitundu mu kulabirira omwana ono gwebaazaala tebeetegekedde nga baagala kkooti eragire aba Marie Stopes okulabirira n’okuweerera omwana ono ate baliyirirwe n’ensimbi zebaakakozesa bukyanga bafuna lubuto luno.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: New Vision

EGY’OKULONDA GYENGEDDE MU KKOOTI EJULIRWAMU

Okuvaako mu mbuga z’amateeka,kkooti ejulirwamu emalirizza enteekateeka zaayo mwegendera okuwulira emisango gyonna egyekuusa ku by’okulonda egyatwalwayo gyebuvuddeko ababaka abawerako mu lukiiko lw’eggwanga bannaabwe bwebavvunkanira ebifo eby’enjawulo bwebaali bagezaako okubasuuza omugaati gw’obukiise.

Agavudde embuga gategeezezza nti amyuka Ssaabalamuzi w’eggwanga lino Steven Kavuma y’agenda okukulemberamu balamuzi banne abasatu aba kkooti eno bawulirize okujulira kw’ababaka bano okusuubirwa okuggwa ng’ennaku z’omwezi amakumi 23rd guno ogwa Museenene nga gitandise olwa leero.

Egimu ku misango gino kuliko ogwa Peter Ssematimba owa Busiro South awerennemba ne munne Steven Ssekigozi,Alice Alaso omubaka wa Serere attunka na kakiikoka byakulonda,Richard Lumu munna DP naye attunka n’omubaka wa Mityana South Henry Kamya Makumbi n’abalala.

Photo: The Observer

OMULAMUZIA WAAKANYIZA EKYOKWONGEZAAYO EMYAKA KWEBAWUMULIRA.

Omulamuzi wa kkooti ya ssemateeka Keneth Kakuru avuddeyo nawakanya ebbago lyeteeka eryokujja ekkomo kumyaka gyabalamuzi.

Bweyabadde ayogerera mulukungana lwabakwatibwako kubutonde bwensi, omulamuzi Kakuru ategezezza nti ye teyenyigirangako munteekateeka yakujja kkomo kumyaka gyabalamuzi.

Omulamuzi okuvaayo bwati abadde ayabukula okuwanjaga kwomubaka wa Mukono North mu palamenti Johnson Muyanja Ssenyonga bweyategezezza nti NEMA ekkiriza abasiga nsimbi okwonona obutonde okusobola okuzimbawo amakolero.

Kakuru agamba nti ababaka ba palamenti badembe okugenda mumaaso nokubaga amateeka agakuma obutonde bwensi wabula tebalina kubaga mateeka agagendereddwamu okwongezaayo emyaka abalamuzi kwebalina okuwumulira emirimu.

Omubaka we Nakifuma mu palamenti Robert Kfaeero Ssekitoleko yakkiriziddwa okugenda kuluwumula aleete ebbago lyeteeka erigendereddwamu okujja ekkomo kumyaka abalamuzi nabakozi bakakiiko kebyokulonda kwebalina okuwumulira.

Photo: www.chimpreports.com

BAGUMA AKEEZEBWA MU KKOOTI NKULU

Eyaduumiranga poliisi y’amasekkati ga Kampala Aaron Baguma waakulabikako olunaku olw’enkya mu kkooti enkulu wano mu Kampala oluvannyuma lw’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Johnson Karemani okumuwumiriza mu kkooti eno mu Kalasamayanzi k’olwa leero.

Kitegeezeddwa nti Baguma weyatandikira okuwerennemba n’egy’obutemu omwafiira omukyala nneekoleragyange w’omu Kampala Donah Betty Katushabe yasabirawo okweyimirirwa awoze ng’ava bweru.

Mu getufunye mu ttuntu eriyise Aaron Baguma olunaku lw’enkya lwasuubirwa okusabakwe okw’okweyimirirwa okuwulirwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu Wilson Masalu Musene.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo
Photo: www.youtube.com

GAVUMENTI YANDYEJJEEREZA KAYIHURA

Omulamuzi wa kkooti e Makindye mu butongole akyaggyeewo eky’okuvunaana Ssaabapoliisi wa kuno Gen Kayihura ne basajjabe omusanvu nga bwegubaddenga guwulirwa.

Nga bwekyalagirwa omulamuzi wa kkooti etaganjula egya Ssemateeka gyebuvuddeko bwegubadde leero ng’okugenda mu maaso n’okuvunaana Kayihura ne basajjabe kuyimiriziddwa okutuusa nga kkooti etaganjula Ssemateeka ekiteewuluzza.

Omulamuzi Juliet Nakitende ayimirizza ensonga okusinziira ku kiwandiiko ekyateereddwako omukono Amyuka Ssaabalamuzi w’eggwanga lino Steven Kavuma.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

KKOOTI E KASANGATI ESALAWO LEERO KU BESIGYE

Kkooti ye Kasangati olwa leero lwesalawo obang’enagenda mu maaso n’okuwulira okusaba okwatwalwayo bannamateeka ba Ret Col Dr Kiiza Besigye abaagala abaserikale ba poliisi okwabulira amaka g’omuntu waabwe gebaasimbamu amakanda bukyanga Yinginiya Badru Kiggundu Ssentebe w’akakiiko k’eby’okulonda alangirira ebyava mu kalulu k’obukulembeze bw’eggwanga akaakubwa omwezi ogwaggwa.


Photo: twitter.com

KKOOTI ENSUKKULUMU KU BYAVA MU KALULU EDDAMU LEERO

Okuwulira okwemulugunya ku byava mu kalulu k’omukulembeze w’eggwanga akaakubwa mu mwezi ogwaggwa ng’ennaku z’omwezi 18th okwatwalwayo omu ku bavvunkanira entebe y’obukulembeze bw’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi kuddamu olwa leero oluvannyuma lw’okuyimirizibwa olw’egyalobera wannyindo okweggala olunaku lw’eggulo mu kkooti ensukkulumu.

Kinajjukirwa nti Ssaabalamuzi Bart Katureebe olunaku olw’eggulo yayimirizza okuwulira okwemulugunya kuno olw’ebiwandiiko ebimu ebitaabaddewo ssong’enjuyi ez’enjawulo bakira zibijuliza awamu n’okubyogerako ekyaleeseewo obwetaavu bw’okubirabako olwo kkooti esobole okulondoola ensonga mu buufu bwazo awatali kuzibuuka makkyo.Olwa leero wezinaawerera essatu n’ekitundu ez’akalasamayanzi kkooti ensukkulumu enaaba etandise ogwayo mu nsong’eno.