ABASAWO E KABALE BEEKALAKAASIZZA LWA NSAKO YA MYEZI ENA

Abasawo abali mu kwegezesaamu mu ddwaliro ekkulu e Kabale beesuddemu jjulume nebagaana okuddamu okubaako akalimu kebakwatako ng’entabwe evudde ku nsako zaabwe kati eziweze ez’emyezi ena nga mpaawo kagudde mu ggwanika lyabwe.

Agavudde ku ddwaliro lino galaga nti ministry y’eby’obulamu erina mu ddwaliro lino abasawo abeegezesa amakumi 26 nga buli omu buli mwezi ateekeddwa okusasulwanga Obukadde bubiri bubiri n’emitwalo nkaaga obwa ssente za wano.

Omu ku basawo bano ataagadde kwatuukirizibwa mannya ategeezezza nti kyenkana be batambuza eddwaliro lino wabula abakulu waggulu okulafuubana kwabwe tebakusiima.Tugezezzaako okuwuliziganya n’atwala eddwaliro lino Dr Alex Andema n’agaana okubaako kyayogera ku nsonga eno olw’ensonga nti tasangiddwa ku ddwaliro.

Kitegeezeddwa nti abakulira eddwaliro lino bayiseewo olukiiko mu kaweefube agendereddwamu okugonjoola ensonga wabula abasawo bano tebeefiirayo ku kubeerawo kwalwo nga bagamba nti enkiiko ez’ekika kino zizze zitegekebwa ng’abakulu badda mu kubatiisatiisa temuli mulamwa nebagamba nti bo kabalinde atwalira ddala eddwaliro akomewo weesanga anaasobola okuwulira n’okutegeera embeera mwebali.

 

BESIGYE AKWATIDDWA E KABALE

Poliisi e Kabale ewandagazza amasasi n’okweyambisa omukka ogubalagala mu kugezaako ogumbulula abawagizi ba Ret Col Dr Kiiza Besigye ababadde bamukungaaniddeko mu kitundu kye Lwamukyukyu n’oluvannyuma n’emukwata n’emuggya ku bawagizibe eggulo lya leero.

Besigye abadde yakedde Kabale awamu ne banne bwebazze bavunaanibwa ogw’okulumya abaserikale ba poliisi abana n’okwonoona mmotoka zaabwe bwebaali bakubye olukungaana mu Kabale mu mwaka gwa 2012.

Kubano kubaddeko Lord Mayor wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago,Omubaka omulonde owa Kawempe ey’obukiikaddyo Munyagwa Mubarrack Sserunga,akulira ekiwayi ky’abakyala mu FDC Ingrid Turinawe n’abalala.

Ono akwatiddwa mu kitundu kya Lwamukyukyu mu ggombolola ye Lukiga mu district ye Kabale nga wammaggwe wabaddewo vvaawompitewo wkati w’abawagizibe ne poliisi ekigiviiriddeko okuwandagaza amasasi n’okubasiwamu omukka ogubalagala.

Gyo emisango egibadde gibatutte embuga gyizziddwa ng’ennaku z’omwezi 6th omwezi ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga lwebasuubirwa okudda embuga.

 

ABAFUMBO BATTINGANYE E KABALE

Poliisi e Kabale etandise okunonyereza kunfa y’abafumbo ababiri omusajja abadde atemera mu gy’obukulu amakumi 26 ne mukyalawe abadde atemera mu myaka amakumi 23 ababadde babeera ku kyalo ekimanyiddwanga Mujju ekisangibwa mu muluka gwe Nyakabungo mu district ye Kabale.

Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu lya Kigezi Elly Mate ategeezezza nti omukyala Evelyne Tukamuhebwa attiddwabba Atanansio Kuketa n’oluvannyuma naye neyeeyimbamu ogwa Kabugu era yasangiddwa alengejja nga nnabe yavudde ku mukyala kukwata kunsimbi zebaggya mu makungula gaabwe naaweererzaako abewaabwe ng’omwami tategedde.

Matte ategeezezza nti katabani kabano ababiri kasajjakattu akatemera mu gy’obukulu omukaaga gwokka ke kategeezezza poliisi okufa kwa bakadde baako wakati muntiisa ey’ekitalo gyekajjiddemu ku poliisi nga baabuwe n’amaziga gakayitamu.Mate ategeezezza nti emirambo gyombi giggyiddwayo negitwalibwa mu ddwaliro lye Kabale ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso.

 

OMUSUJJA GUYIMIRIZZA EBY’EMIZANNYO

Ekirwadde ky’omusujja ogumanyiddwa nga Rift Valley Fever ekyalumbe abataka mu Kabale kisannyalazza eby’emizannyo mu kitundu ng’ekikopo ky’omuzannyo gwa Golf eky’amazuukira ga Kristo ekibadde kitegekeddwa wakati w’ennaku z’omwezi amakumi 25th n’amakumi 26th guno ogwa Mugulansio mwetuli kiyimiriziddwa ekyosi kimale okuyita.

Ssentebe w’akakiiko akateesiteesi ak’omuzannyo guno Edward Kabukyu ategeezezza nti kino bakituuseeko oluvannyuma lw’okwebuuza ku bakulembeze b’ekitundu n’ababadde babateeseemu ensimbi.Kabukyu agambye nti babadde tebalina bwebayinza kugenda mu maaso na muzannyo guno ng’ekitundu kyazindiddwa nnawookeera w’ekirwadde kino.

Kinajjukirwa nti abantu babiri eggwanga lyategeezebwa abakungu ba ministry y’eby’obulamu nti ekirwadde kyabanyooladda ensingo nga n’abalala gyebuvuddeko baggyibwako omusaayi n’ekigendererwa ekyetegereza obanga ddala nabo baakwatibwa ekirwadde kino.

Omusujja guno gutambulira mu ngeri za njawulo nga wabula bannayuganda bagambibwa okubeera nga baguggya ku bisolo ebirina akawuka akagutambuza ssinga babikwatako oba okulya ennyama yaabyo ssinakindi n’okubinywamu amata.