KABAKA AJJANJABYE AB’E SSINGO

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye ne yeetaba mu kugema abaana abakungaanyiziddwa ku ddwaliro lye Ntwetwe Health Centre III mu lussisira lw’eby’obulamu olwakubiddwawo Obwakabaka bwa Buganda.Atusakira ag’Embuga Zirimala Daudi eyessizza mu ddene n’awondera Omutanda ategeezezza nti abalwadde nkumi na nkumi be bajjanjabiddwa.Ono ayogedde n’omu ku basawo owa Mukwaya General Hospital akuliddemu banne n’ategeeza nti abasinga ku balwadde abajjanjabiddwa mu lusiisira luno basangiddwa n’omusujja gw’ensiri ng’abasinga ku bano babadde bakyala bazito n’abaana abato.

Ssaabasajja Kabaka wano w’asuubirwa okuva ate agende mu nteekateeka y’eby’enjigiriza era mu ssazalye lino erye Ssingo ewa musajjawe Mukwenda.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO :Erinnya ly’Ow’essaza lya Ssaabasajja Kabaka erya Ssese erya Kweba

Leero lwa Kiwanuka Olw’okuna,ennaku z’omwezi ziri 18th omwezi ogwa Muzigo Ogw’okutaano.

Mu kawaayiro kaffe kano ak’omumuli gw’eby’ennono leero tutunuulidde ennono y’erinnya ly’Ow’essaza lya Ssaabasajja Kabaka erya Ssese erya Kweba.

Ebyafaayo bya Buganda bigamba nti omukulu w’essaza lino eyasooka yayitibwanga Ssese era yabeeranga ku kizinga Buggala eyo mu Ssese.

Kigambibwa nti Ssese ono yali musajja mumpinnyo gwoyinza okuyita ‘Mumpyatundakwakyeya’ era nga mulwanyi nnyo kale yalina Engabo nga bwagikwata emubikkira ddala yenna.

Ono buli lweyagikwatanga nga kyenkana akwebera bukwebezi muyo,wano webaava ne bamukazaako ‘Nkwebe’ olw’okukwebereranga mu Ngabo ye.

Abataka buli lwebaabanga boogera ku Sseze bweyabanga ajja gyebali nga bagamba nti ‘Nkwebe wuuyo ajja akwebera’ olw’obumpibwe.

Tebaggya okwo erinnyalye erya Ssese nebalyerabirira ddala n’ayitibwanga Kweba n’olwa leero,olwo erirye erya Ssese neridda ku bizinga byonna ebyetoolodde Buggala.

Wabula erinnya lyetwogeddeko waggulu awo erya Nkwebe lyo lituumwa mu kika ky’ab’Emmamba wewaawo nga liggwaayo Nkwebere.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO : Erinnya ly’owessaza lya Beene erya Buweekula

Olwa leero lwa Mukasa Olw’okusatu ennaku z’omwezi ziri 17th omwezi ogwa Muzigo Ogw’okutaano.

Mu kawaayiro kaffe ak’omumuli gw’eby’ennono leero tutunuulidde erinnya ly’owessaza lya Beene erya Buweekula amanyiddwanga Luweekula.

Ennono y’erinnya lino yava ku njasabiggu y’omusajja amanyiddwanga Kyewaalabye eyali ow’Ekkobe eyawangula ku Bunyoro ekitundu ekyafuukamu essaza lino erya Buweekula.

Omusajja ono Kyewaalabye yali wa ntisannyo era abakyala abanyoro baalemererwanga n’okuggya abaana baabwe ku migongo babayonse.

Kale bwebaalabanga Kyewaalabye yeewunguddemu nga babaguliza ku bannaabwe nti ‘’Abange muweekule abaana ku migongo mubayonse’’

Enjogera eyo Kyewaalabye kweyava amale ayitibwe Luweekula n’ekitundu oluvannyuma ekyamukwaswa Kabaka Kamaanya e Kasengejje nekituumwa Buweekula.

Erinnya lino era ligereesebwa okuba nga lyaggyibwa ku muzira eyaweekula ekitundutundu ku Bukama bwa Bunyoro Kyewaalabye,ekitundu kye yaweekula ne kituumwa Buweekula naye n’atuumwa Luweekula.

KABAKA ALAGIDDE EKIRWANYISAMUKENENYA KITANDIKE

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II akoowodde bannayuganda bonna okukwasza awamu kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kya Kiryatabaala ekyongezza mu mbavu mwekirumbira bannayuganda.

Magulunnyondo bino abyogeredde mu Bulange Mengo bw’abadde atongoza kaweefube w’okulwanyisa endooliito mu maka eyatuumiddwa ‘He for She’ ekivuunulwa ‘Abaami tubeewo ku lwa bannakazadde b’eggwanga’.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

BUGANDA EYANUKUDDE KU KYA BOBI WINE

Obwakabaka bwa Buganda buvuddeyo ku nsonga y’ettaka erisangibwa e Busaala okuliraana n’ekifo ky’abadigize ekya One Love Beach ey’omubanda wa Kabaka Robert Kyagulanyi amanyiddwanga Bobi Wine.

Kitegeezeddwa nti Bobie Wine ekifo kino ekiwerako yiika ennamba n’ekitundu yali takifuniranga liizi era nga kibadde kikyali kyereere y’ensonga lwaki abadigize babaddenga bakisimbamu mmotoka zaabwe.

KABAKA AYAMBALIDDE KAWEEFUBE W’OKULWANYISA EKIRWADDE KY’OKUTONNYA

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asabye buli alina kyasobola okukola akikolerenga abakyala abatawanyizibwa ekirwadde ky’okutonnya ekimanyiddwanga Fistula.

Mu kwogerakwe okumusomeddwa Omwana w’engoma Omumbejja Nassolo Joan ku mukolo Obuganda kwebukwasirizza abaddukanya eddwaliro lye Kitovu ejjamba ery’okwongera okudduukirira abakyala abatawanyizibwa ekirwadde kino ogubadde wano mu mbuga ya Buganda e Bulange Mengo Ssaabasajja Kabaka ategeezezza nti mpaawo asanye kwesamba buvunaanyizibwa buno obukwata ku ba maama b’eggwanga.

Sister Nalubega Florence akulira eddwaliro lino eryazimbirwa ku musingi kw’obuminsane mu Ekerezia akwasiddwa obukadde bwa wano 70 mu nteekateeka y’okudduukirirwa abatawanyizibwa ekirwadde kino.

Ye Kamalabyonna wa Buganda Oweekitiibwa Charles Peter Mayiga asabye abaami okukomya okuddukanga ku bakyala baabwe nga bafunye ekizibu ky’obulwadde buno obw’okutonnya nga bwebazenga bakola wabula babeerenga wamu ne bakyala baabwe bagobererenga endagaano ze baba baakuba nabo nga babawasa kazibe za mu masinzizo oba ezaffe ez’enkola y’obufumbo bw’ekinnansi.

Ejjamba eridduukiridde eddwaliro lino okuva mu nteekateeka y’emisinde Ssaabasajja Kabaka gyeyasiima okuwomamu omutwe okuva mu mwaka gwa 2014 kati liwezezza Obukadde 190.

Sister Nalubega Florence akulira eddwaliro lino ku mukolo guno yeebazizzannyo Beene Ssaabasajja Kabaka wa Buganda olw’okulowooza ku bakyala n’alabula n’abatawanyizibwa ekirwadde kino baleme kufanga kisiiri baveeyo bagende mu malwaliro bajjanjabwe.

Photo: www.monitor.co.ug