ABAATULUGUNYIZIBWA KONY BAAKUGOBERERA KKOOTI

Kkooti y’ensi yonna etuula e Hegue mu Netherlands ng’ekwataganidde wamu n’ekitebe kya Denmark wano mu ggwanga batongozza kaweefube w’okutuusa ebigenda mu maaso mu kkooti eno eri abantu abaakosebwa olutalo lwa Mawale Yosefu Kony.

Bw’abadde atongoza enteekateeka eno,omuwandiisi wa kkooti eno Herman Von Herbal ategeezezza nti kino basazeewo bakikole oluvannyuma lw’okumanya nti abataka abaakosebwa beetaaga okubigoberera n’okusingira ddala eby’eyaliko omu ku baduumizi ba Kony awozesebwa mu kkooti eno Dominic Ongwen.

ONGWEN YATENDEKA ABAWAMBE OBUSEZI NEBAALYA BANNAABWE

Kooti y’ensi yonna etuula e Heague mu Netherlands esomedde eyaliko omumyuka wa Mawale Yosefu Kony amanyiddwa nga Dominic Ongwen emisango egyekuusa ku kutyoboola eddembe ly’obuntu obutemu n’okuwakula entalo  egiwerera ddala 70 olwa leero lwegitandise okuwulirwa.

Bwabadde asoma obujulizi obw’enjawulo obulumika Dominic Ongwen mu maaso g’abalamuzi abasatu abagubadde mu mitambo okubadde Curo Turfesser,Mac Perrin ne munnaabwe Chang-ho Chung,Ssaabawaabi wa kkooti eno Fatou Bensouda agambye nti newankubaddenga Ongwen naye yawambibwa buwambibwa nga bwebyogerwa ,yasalawo atendekebwe alinnyisibwe ne mu madaala ag’enjawulo mu ggye ly’abayeekera lino n’akulembera namu ebikolwa by’ekityobooladdembe bingi ob’olyawo yakola bingi ng’olwo takyalagirwa bulagirwa nga bwegwalibadde nti yawambibwa buwambibwa.

Mu bumu ku bujulizi obuleeteddwa embuga kitegeezeddwa nti Ongwen yawaliriza  abawambe okutta bannaabwe nebabafumba n’okulya ne balya n’awaliriza n’abakyala abaabanga n’amabujje ogugakasukanga mu mugga ssinga gaakaabanga nga bali mu bifo eby’obwerinde ennyo.Bensouda era ategeezezza nti balina bwino mungi alumika Ongwen omuli n’amaloboozi gebaggya wano nga gakwatira ddala ku bulumbaganyi obw’emirundi ena mu myaka okuli ogwa 2003 ne 2004 obwakolwa ku nkambi z’ababundabunda eya Odek,Pajule,Abia ne Balayo gyebattira abantu ba bulijjo abawera nebabatulugunya nebateekera n’omuliro obusiisira bwabwe.Enteekateeka eno esoose mu kutandiikiriza okuwulira egivunaanwa Ongwen mu kkooti eno egenda kumala ennaku ttaano wabula nga wano mu ggwanga abagoberezi b’ensonga babifuna butereevu okuva e Heague mu woteeri ya Africana ne mu bukiikakkono bw’eggwanga emisango gino gyegyaddizibwa.