SSEMAKA ASAZEESAZE MUKYALAWE N’OMWANA LWA POLOTI

Entiisa ezinzeeko ekyalo kye Kasusuba mu district ye Rakai Ssemaka bw’asanjaze mukyalawe n’omwana waabwe ow’emyaka ebiri gyokka n’abatta.Atwala eby’okunonyereza ku buzzi bw’emisango e Rakai David Mpande ategeezezza nti Ssemaka Edward Ssazi ow’emyaka 37 y’asse mukyalawe Eunice Nabwami n’omwana ng’amulanga kumusaba ku nsimbi zeyabadde aggye mu kutunda poloti.

Mpande agamba nti ono naye awonedde watono okugajambulwa abatuuze abakaaye okukira enjuki enkubemu ejjinja ng’emirambo giggyiddwayo negitwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Rakai.

BUGANDA EYANUKUDDE KU KYA BOBI WINE

Obwakabaka bwa Buganda buvuddeyo ku nsonga y’ettaka erisangibwa e Busaala okuliraana n’ekifo ky’abadigize ekya One Love Beach ey’omubanda wa Kabaka Robert Kyagulanyi amanyiddwanga Bobi Wine.

Kitegeezeddwa nti Bobie Wine ekifo kino ekiwerako yiika ennamba n’ekitundu yali takifuniranga liizi era nga kibadde kikyali kyereere y’ensonga lwaki abadigize babaddenga bakisimbamu mmotoka zaabwe.

GAVUMENTI Y’EBBA ETTAKA E MUBENDE NE AMURU

Abataka mu district ye Mubende ne ginnaayo eya Amuru baweddemu essuubi eri Gov’t eramula kuno mu kulwanyisa ekibbattaka ewaabawe era nebagituuma Gov’t ekyasinze okubba ettaka ku bantu baalyo.

Bino bye bimu ku byeyolekedde mu alipoota ekoleddwa mu kitundu kino ng’ewomeddwamu omutwe ekitongole ekimanyiddwa Centre for Basic Research mu kunonyereza okukoleddwa ku bugulanyi bw’ebibangirizi by’ettaka n’enfuga y’ettaka mu ggwanga lino.

Akuliddemu abanoonyereza bano Omukyala Josephine Ahikire ategeezezza nti okunonyereza kwebakoze kulaze nti abantu okwekubiranga enduulu eri Gov’t ku by’ettaka baakivaakodda kubanga nayo tebakyagyesiga ng’eringa y’ewomye omutwe mu kubanyagako ettaka lyabwe basigalenga nga bataayaaya.

Alipoota eyongera n’eraga nti ebyalo bina birambirira mu district ye Mubende byasengulwa oluvannyuma lw’ekitongole kya Gov’t eky’obusigansimbi ekya Uganda Investment Authority okugula ettaka ku nnaggagga Emanuel Bukko Kayiwa bamale baliweeko liizi ya myaka 99 kampuni y’abalimi b’emmwanyi aba Kaweeri Coffee Ltd ey’abagirimaani.


PHOTO: www1.american.edu

ETTAKA LITABUDDE ABE BUTALEJJA,BAAGALA KUTTINGANA

Abantu bana bawonedde watono okugenda ezzirakumwa oluvannyuma lw’okulwanaganira ettaka mu district ye Butalejja nga wetwogerera bali ku bujjanjabi mu ddwaliro lye Busolwe.

Ssekamwa wa poliisi eruuyi eno mu Bukedi Micheal Odongo abalumiziddwa ategeezezza nti kuliko;Samson Hamba,Micheal Beponde,William Namuseho n’omulala ategeerekese nga Kaylo nga bonna batuuze mu gombolola ye Himutu.

Odongo agamba nti abana bano balumbiddwa abenju ya Hajji Hifudde bwebabadde munimiro yomuceere e Doho nga bakunsa mmimbi zaabwe nga teba poliisi ssinga kati bano zembuyaga ezikaza engoye.

Poliisi egamba nti esobodde okukwata abantu 17 abateberezebwa okulumba abantu bano era kati bakuumirwa ku poliisi ye Busolwe ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.

Ettaka erikayanya ab’enju zombi okuli eya Hajji Hifudde ne Hajji Maliki Koire liwezaako yiika 1400 era nga balimaze emyaka amakumi 30 nga balikaayanira era nga minister w’ensonga zomunda omugenzi Gen Aronda Nyakairima yagezaako n’okubatuuza wabula weyafiira nga tebinaggwa.