OMUMULI GW’EBY’ENNONO-ERINNYA BOOGERE

Olwa leero lwa Nagawonye olw’Okutaano ennaku z’omwezi ziri 16th omwezi ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga.

Mu kawaayiro kaffe kano ak’Omumuli gw’eby’ennono,leero tutunuulidde erinnya Boogere.Erinnya lino litera okutuumwa ng’eribbule nga mu lulyo olwo lyaliko alirina ate abalala nebalituuma nga lya bwalule.

Erinnya lino lituumwannyo abaana ab’obulenzi naye ng’emirundi egisinga litera kuweebwa abo abaana ababa bazaaliddwa ng’embuto za bannyabwe ezo zoogereddwa bingi.

Erinnya lino lya lugero nga lugamba nti ‘’Bakale boogere nga bamugambye gwayagala’’ ekitegeeza nti emirundi egisinga omuntu bwayogerwako amazima tatera kukaalaamuka atera n’abita.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO: Ennono y’erinnya ly’Owessaza lya Beene erye Buyaga

Olwa leero lwa Kazooba/Bbalaza,ennaku z’omwezi ziri amakumi 22nd omwezi ogwa Muzigo Ogw’okutaano.

Mu kawaayiro kaffe ak’amakulu n’ennono y’erinnyalyo tutunuulidde ennono y’erinnya ly’Owessaza lya Beene erye Buyaga amanyiddwa nga Kyambalango.

Essaza lino lyali kitundu kya Bukama bwa Bunyoro nga Obuganda bwalifunira mu ntalo za Kabarega ne Mwanga II era lyatongozebwa mu 1896.

Ennono y’erinnya lino ekwataganyizibwa ne Kabaka Muteesa Walugembe bweyaggya essaza lya Mugema lino erya Buyaga ku Mugema Nkakaalukanyi n’aliwa Tebukozza omusajja Ow’olugave Ow’olugave ekitaasanyusa bataka.

Tebukozza bwayali afuga essaza lino Kabaka Muteesa Walugembe n’amuwa erinnya erya Kyambalango ng’ategeeaza nti amwambazza ekitiibwa ekinene eky’okufuga essaza lya Jjajja wa Buganda Mugema ekigeraageranyizibwa n’omukopi okwesiba eddiba ly’engo ssonga lyesibwa Kabaka yekka.

Mu kiseera nga Tebukozza afuga Buyaga Kabaka Muteesa yalwalannyo abawanuuzi ne bagamba nti obwo ‘Busobe’ obuvudde ku kuwa Omukopi essaza lya Mugema lino.

Kabaka bweyawulira ebyo n’aggya Tebukozza ku ntebe n’azzaako Mugema Nkakaalukanyi olwo Tebukozza n’aweebwa obwa Kimbugwe e Buruuli erinnya Kyambalango nerisigalira atwala Buyaga.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO :Erinnya ly’Ow’essaza lya Ssaabasajja Kabaka erya Ssese erya Kweba

Leero lwa Kiwanuka Olw’okuna,ennaku z’omwezi ziri 18th omwezi ogwa Muzigo Ogw’okutaano.

Mu kawaayiro kaffe kano ak’omumuli gw’eby’ennono leero tutunuulidde ennono y’erinnya ly’Ow’essaza lya Ssaabasajja Kabaka erya Ssese erya Kweba.

Ebyafaayo bya Buganda bigamba nti omukulu w’essaza lino eyasooka yayitibwanga Ssese era yabeeranga ku kizinga Buggala eyo mu Ssese.

Kigambibwa nti Ssese ono yali musajja mumpinnyo gwoyinza okuyita ‘Mumpyatundakwakyeya’ era nga mulwanyi nnyo kale yalina Engabo nga bwagikwata emubikkira ddala yenna.

Ono buli lweyagikwatanga nga kyenkana akwebera bukwebezi muyo,wano webaava ne bamukazaako ‘Nkwebe’ olw’okukwebereranga mu Ngabo ye.

Abataka buli lwebaabanga boogera ku Sseze bweyabanga ajja gyebali nga bagamba nti ‘Nkwebe wuuyo ajja akwebera’ olw’obumpibwe.

Tebaggya okwo erinnyalye erya Ssese nebalyerabirira ddala n’ayitibwanga Kweba n’olwa leero,olwo erirye erya Ssese neridda ku bizinga byonna ebyetoolodde Buggala.

Wabula erinnya lyetwogeddeko waggulu awo erya Nkwebe lyo lituumwa mu kika ky’ab’Emmamba wewaawo nga liggwaayo Nkwebere.