BANNAMITYANA BAWAKANYIZZA EMISOLO KU MAYUMBA

Bannayuganda abawangaalira mu Mityana beeweredde okuggalawo amayumba gaabwe olw’emisolo egitandise okubagerekerwa ku mayumba gaabwe ge bagamba nti agasinga basulamu masule newankubadde gaazimbibwa mu ngeri y’amakozi ga nsimbi.

Twogeddeko n’abatuuze mu ggombolola ye Manyi abasing gyebaamalirizza okugerekerwa emisolo gy’amayumba nga bagamba nti kyamazima ddala abakungu ba district yaabwe baagala kubagoba mu ggwanga lyabwe ssinakindi kubabulizaako ddala webaggya kyakulya.

KAKUYEGE YAFIIRIZA KCCA EMISOLO GYA BUWUMBI

Minister w’ensonga za Kampala Betty Namisango Kamya asabye ba Ssentebe b’eggombolola za Kampala beerabire enjawukana zaabwe ng’abantu bakolere bannaKampala abaabalonda.

Bino Kamya abyogeredde mu kuggulawo lukungaana lwabya misolo gyagambidde nti endooliito ezitaggwa mu ba Ssentebe bano ne ba Kansala baabwe ye nnabe asinga okuvaako ensimbi ennyingi ennyo okulemera mu bantu n’ebitongole ate n’abasuubuzi nebalemeranga ku nguudo.

Ye Sam Sserunkuuma ow’eby’emisolo mu kitongole kya KCCA ategeezezza nti okuva kakuyege lweyatandika omwaka oguwedde mu mwezi Kafuumuulampawu ogw’okuna okutuusa mu mwezi ogwa Mukutulansanja Ogw’okubiri omwaka guno enkunganya y’emisolo mu kitongole tebadde nnungi n’akatono ng’abaalinga bakunganya Obuwumbi 120 nebadda ku Buwumbi 80 bwokka.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo