DR STELLA NYANZI ATEEREDDWA

Omulamuzi James Eremye Mawanda owa kkooti ya Buganda Road wano mu Kampala ateewuluzza omukyala atasiba zikweya Dr Stella Nyanzi awerennemba n’egy’okuyita ku mikutu emiyungabantu n’amala amalako abantu abamu egya Nakakaawa nga ne Kabwejungira tamutalizza.

Dr Nyanzi ateereddwa ku kakalu ka kooti ka Bukadde 10 obw’obutaliiwo nga n’abamweyimiridde abataano balagiddwa buli omu okusasula akakalu ka Bukadde kkumi kkumi era obw’obutaliiwo.Omulamuzi Eremye Mawanda alagidde Dr Stella Nyanzi n’abamweyimiridde nti tebasaanidde kwogera kana na kataano ka musango guno mu mawulire.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

 

 

DR STELLA NYANZI EBIBYE BIRANZE, TASOMEDDWA GIMULANGWA

Omusango gwa Nnaalongo Dr Stella Nyanzi avunaanwa ogw’okuyitanga ku mikutu emiyungabantu n’amala amokkola awamu n’okuyita Kabwejungira Museveni omugogo gw’obutuulo gwongezeddwayo okutuusa nga 10th omwezi ogujja ogwa Muzigo Ogw’okutaano.

Ono alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road James Eremye Mawanda n’amutegeeza nti olutuula lwa leero lubadde terusobola kugenda mu maaso okutuusa nga kkooti enkulu emalirizza okuwuliriza oluuyi lwa Nnyanzi mweyasabira ensongaze okuddamu okusooka okwetegerezebwa n’okusinga bweyammibwa olukusa olweyimirirwa.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo