OMUMULI GW’EBY’ENNONO-SSAABADDU,SSAABAGABO,SSAABAWAALI NE MUSAALE

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Nagawonye olw’okutaano,ennaku z’omwezi ziri 7th omwezi guno ogwa Kasambula Ogw’omusanvu.

Leero njagadde tutangaale ku mannya g’ebitiibwa byozze osomako mu kawaayiro kaffe kano okuli;Ssaabagabo ,Ssaabaddu,Ssaabawaali ne Musaale.

Ebitiibwa oba amannya gano byaweebwanga bakulu abamu ku b’amasaza ga Buganda okugeza;

Kaggo afuga Bulemeezi ewaffe mu Balyannaka ye Ssaabaddu wa Buganda nga Ssaabaddu kitegeeza y’afuga abaddu bonna oba abasajja ba Kabaka.

Mukwenda afuga essaza lye Ssingo ye Ssaabagabo w’Obuganda akuuma engabo ya Kabaka Kamanyi.

Ssekiboobo afuga essaza lye Kyaggwe ye mukulu w’abaddu bonna abawuulu edda abaayitibwanga Abawaali era ye Ssaabawaali.

Kayima afuga essaza lya Mawokota ye Musaale eyakulemberangamu olunyiri lw’abalwanyi ba Kabaka nga bagenda okutabaala bwatyo n’asigaza obwa Musaale.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO- MENGO

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Kiwanuka Olw’okuna,ennaku z’omwezi ziri 22nd omwezi guno ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga.

Tuzze twogera ennono z’amannya g’ebitundu eby’enjawulo wano mu ggwanga naye tubadde tetwogeranga ku nnono y’erinnya Mengo Embuga y’Obwakabaka bwa Buganda.

Mengo lwerusozi okutudde Olubiri lwa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda ng’olusozi luno lutudde ku migemo gy’enjazi ez’amanyi era ng’enjazi zino abantu baazitambuliranga engendo okujja okuseererako emmere yaabwe.

Ejjinja omuntu kwasirira liyitibwa Lubengo,ku lusozi luno kwaliko amayinja gano mangi abantu ge beeyambisanga okusa emmere yaabwe ey’empeke n’endala bwebatyo nebalwogerangako nti tugenda eri ku lusozi lw’Emmengo.

Ejjinja lino erimu liyitibwa Olubengo ate ennyingi ne ziyitibwa e Mmengo,olusozi luno okubeerako enjazi zino ennyingi kwe kwaluviira okuyitibwa Mengo.

Abasenze abaava mu bizinga bye Ssese bamale basenge mu bitundu bye Mmengo be baatandiikiriza okuseerera emmere yaabwe ku mayinja gano.

Mmengo yazimbwako Olubiri olwasookera ddala mu mwaka gwa 1885 nga lwazimbwa Sekabaka Mwanga II Kabaka wa Buganda ow’amakumi 31st.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO – Abazadde okuyomba ng’abaana balaba

Olwa leero lwa Kiwanuka Olw’okuna ennaku z’omwezi ziri amakumi 25th omwezi guno ogwa Muzigo ogw’okutaano.

Ng’abaana baffe bwebali mu nnaku ezisembayo badde ku masomero nga n’abamu bazzeeyo ssabbiiti eno entanda eno egenda eri abazadde ng’ennono mu nkuza y’abaana.

Ssi kyannono abazadde okunenengana oba okuyomba ng’abaana balaba ssi nakindi nga bawulira.

Kino bwekibaawo abaana batawanyizibwannyo mu bwongo omuzungu kyayita Psychological torture nga beebuuza ku babiri taata ne maama ani mutuufu ani mukyamu era bakkiririze mu ani.

Ng’abaana baffe bwebadda ku masomero mu ggandaalo lino,abazadde mwewale okulumaganira mu nziza y’abaana ku masomero abaana baleme kugenda na kizibu kino ku bwongo kubanga kiyinza n’okubalemesa okuyiga obulungi.

Mu nkuza y’abaana ey’ennono abazadde tebasaanidde kulaga butakkanya bwabwe eri baana,woofiisi y’abazadde gyebeenenyeza ky’ekisenge gyebasengekera ensonga z’amaka sso ssi mu lujjudde wadde mu maaso g’abaana.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO : Buyinjabutoole e Gomba

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Walumbe Olw’okubiri ennaku z’omwezi ziri amakumi 23rd omwezi ogwa Muzigo Ogw’okutaano.

Mu kawaayiro kaffe kano ak’Omumuli gw’eby’ennono njagadde olwa leero tumalirizeeyo ennono endala ezitambulira ku linnya lya Kitunzi atwala essaza lya Beene erye Gomba eryaweebwa Wasswa Balamaga ow’Entalaganya eyaligobamu abanyoro.

E Ggomba eriyo Omutala oguyitibwa Buyinjabutoole nga ku mutala guno akayinja kaakubirako ekigere ky’omwana w’Omugabe Wasswa Balamaga Kabaka gweyali atumyeyo okugoba abanyolo abo.

Abatabaazi/abalwanyi ba Balamaga kwe kwogera nga beewuunya nti’’Obuyinja bwetoola okukuba omwana w’omugabe’’! ne leero ekitundu kino kyonna kyakazibwako Buyinjabutoole era lyerinnya erimanyiddwa.

Omutala guno guliraanye omulala ogumanyiddwanga Mpenja era mu Ggomba.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO : Erinnya ly’owessaza lya Beene erya Buweekula

Olwa leero lwa Mukasa Olw’okusatu ennaku z’omwezi ziri 17th omwezi ogwa Muzigo Ogw’okutaano.

Mu kawaayiro kaffe ak’omumuli gw’eby’ennono leero tutunuulidde erinnya ly’owessaza lya Beene erya Buweekula amanyiddwanga Luweekula.

Ennono y’erinnya lino yava ku njasabiggu y’omusajja amanyiddwanga Kyewaalabye eyali ow’Ekkobe eyawangula ku Bunyoro ekitundu ekyafuukamu essaza lino erya Buweekula.

Omusajja ono Kyewaalabye yali wa ntisannyo era abakyala abanyoro baalemererwanga n’okuggya abaana baabwe ku migongo babayonse.

Kale bwebaalabanga Kyewaalabye yeewunguddemu nga babaguliza ku bannaabwe nti ‘’Abange muweekule abaana ku migongo mubayonse’’

Enjogera eyo Kyewaalabye kweyava amale ayitibwe Luweekula n’ekitundu oluvannyuma ekyamukwaswa Kabaka Kamaanya e Kasengejje nekituumwa Buweekula.

Erinnya lino era ligereesebwa okuba nga lyaggyibwa ku muzira eyaweekula ekitundutundu ku Bukama bwa Bunyoro Kyewaalabye,ekitundu kye yaweekula ne kituumwa Buweekula naye n’atuumwa Luweekula.

MUKENENYA AZINZEEKO BUGANDA

Ettundutundu ly’Obwakabaka bwa Buganda linokoddwayo ku bitundu by’eggwanga ebisinga okubeeramu abantu abaseega n’ekirwadde kya Kiryatabaala nga district ye Mityana n’endala ate yo ekiri eyo kisa kinegula.

Akulira eby’obulamu mu bwakabaka bwa Buganda Dr Phiona Kalinda ategeezezza nti district okuli;Bukamansimbi,Rakai,Kiboga,Masaka,Mukono,Mubende n’endala nazo teziyimiridde bulungi ng’entabwe esinze kuva ku bungi bw’abantu abawangaalira mu bitundu ebyo.

Ono agamba nti ebimu ku bisinze okutanula embeera y’okusaasaana kw’ekirwadde be bantu bano okumira eddagala nebaweweeza ku kirwadde.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo Credit: www.buganda.or.ug

MAYANJA NKANGI ATENDEREZDDWA

Eyaliko Kamalabyonna wa Buganda Omugenzi Joash Mayanja Nkangi ayogeddwako ng’omu ku bannabyabufuzi abasinga obulungi eggwanga beryali libaddeko nabo.Omubaka Abdul Katuntu ategeezezza nti mu bannabyabufuzi ba wano abatabangako na nziro yonna ye W’ekitiibwa Nkangi.

Ye munne Medard Lubega Sseggona ategeezezza nti Oweekitiibwa Nkangi abadde munnamateeka omulambulukufu ate omuddu wa Buganda atasangika.Bano bategeezezza nti eggwanga terisaanye kukungubagira kufaakwe wabula okwebaliza obulamubwe.

BUGANDA EYINGIDDE BIZINGA KULWANYISA MUKENENYA

Bannayuganda abaseega n‘ekirwadde kya Mukenenya abasoba mu 5000 be bagenda okuganyulwa mu lusiisira lw’eby’obulamu mu bizinga e Buvuma okuva nga 3rd ne 4th omwezi ogujja.

Minister w’eby’obulamu mu bwakabaka bwa Buganda Dr Ben Mukwaya ategeezezza nti basazeewo batwale obujjanjabi ku bizinga bino lwa nsonga nti eby’obujjanjabi tebituusibwayo bulungi.

Ono ategeezezza nti kyamazima mukenenya munginnyo mu bizinga olw’engeri abavubi gyebeeyisaamu ssonga n’okusomesa ku birwadde ebirala kwakubeerayo.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

KABAKA AYAMBALIDDE KAWEEFUBE W’OKULWANYISA EKIRWADDE KY’OKUTONNYA

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asabye buli alina kyasobola okukola akikolerenga abakyala abatawanyizibwa ekirwadde ky’okutonnya ekimanyiddwanga Fistula.

Mu kwogerakwe okumusomeddwa Omwana w’engoma Omumbejja Nassolo Joan ku mukolo Obuganda kwebukwasirizza abaddukanya eddwaliro lye Kitovu ejjamba ery’okwongera okudduukirira abakyala abatawanyizibwa ekirwadde kino ogubadde wano mu mbuga ya Buganda e Bulange Mengo Ssaabasajja Kabaka ategeezezza nti mpaawo asanye kwesamba buvunaanyizibwa buno obukwata ku ba maama b’eggwanga.

Sister Nalubega Florence akulira eddwaliro lino eryazimbirwa ku musingi kw’obuminsane mu Ekerezia akwasiddwa obukadde bwa wano 70 mu nteekateeka y’okudduukirirwa abatawanyizibwa ekirwadde kino.

Ye Kamalabyonna wa Buganda Oweekitiibwa Charles Peter Mayiga asabye abaami okukomya okuddukanga ku bakyala baabwe nga bafunye ekizibu ky’obulwadde buno obw’okutonnya nga bwebazenga bakola wabula babeerenga wamu ne bakyala baabwe bagobererenga endagaano ze baba baakuba nabo nga babawasa kazibe za mu masinzizo oba ezaffe ez’enkola y’obufumbo bw’ekinnansi.

Ejjamba eridduukiridde eddwaliro lino okuva mu nteekateeka y’emisinde Ssaabasajja Kabaka gyeyasiima okuwomamu omutwe okuva mu mwaka gwa 2014 kati liwezezza Obukadde 190.

Sister Nalubega Florence akulira eddwaliro lino ku mukolo guno yeebazizzannyo Beene Ssaabasajja Kabaka wa Buganda olw’okulowooza ku bakyala n’alabula n’abatawanyizibwa ekirwadde kino baleme kufanga kisiiri baveeyo bagende mu malwaliro bajjanjabwe.

Photo: www.monitor.co.ug

BUGANDA ESIMBIDDE KKOOTI EKKUULI KU MISANGO GY’EBIKA

Obwakabaka bwa Buganda bukawangamudde nti ssibwakuteekesa mu nkola biragiro bya kkooti nzungu ku byekuusa n’ensonga z’emisango gy’ebika by’Abaganda.

Kino kyatuddwa Kamalabyonna wa Buganda Oweekitiibwa Charles Peter Mayiga bwabadde atuuza omukulu w’ekika ky’ennyonyi Nakinsige Kyeyune Mayega Fred mu mbuga ya Buganda e Bulange e Mengo n’ategeeza nti ensonga z’ennono n’obuwangwa teziteekeddwa kutwalibwanga mu kkooti nzungu wabula kkooti ya Kisekwa ey’ennono.

Alina Ddamula ya Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abantu bonna mu bika eby’enjawulo bakwatenga mpola ensonga ezeekuusa ku bukulu bw’ebika nti obukulu mu bika tebalwanira bulwanire wabula ebeera nnono na bulombolombo ebigobererwa sso ssi bumanye na ttutumu ng’abasinga bwebabaddenga balowooza.


Photo: chano8.com