BOBI WINE NE BANNE BATANDISE OKUBBINKANIRA AKALULU

Kakuyege w’abeegwanyiza ekifo ky’obubaka bwa Kyaddondo East mu lukiiko lw’eggwanga olukulu mu butongole atandika leero.Abantu musanvu be baggyayo obwenyi ne bayaayaanira ekifo kino ng’ebibiina biri bibiri byokka ebirina ababikwatidde bendera mu butongole okuli NRM eyaleese Sitenda Ssebalalu ne FDC n’ereeta Apollo Kantinti okwo ne kwegatta omuyimbi ow’erinnya Robert Kyagulanyi amanyiddwanga Bobi Wine eyazze ku bwannamunigina ne bannaabwe abalala bana era abazze nga tewali kibiina kibafuzzeeko ddusu.

BOBI WINE AMALIRIDDE,AYINGIDDE EBY’OBUFUZI

Omuyimbi ow’erinnya Robert Kyagulanyi Sentamu amanyiddwa nga Bobie Wine alaze obumalirivu mu kuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Kyaddondo East era ng’asuubirwa okusunsulwa essaawa yonna ng’enteekateeka z’akakiiko k’eby’okulonda bwezinaaba.

Kyagulanyi ategeezezza nti kino kye kiseera kyennyini kyateekeddwa okuviirayo abantube aba Kyaddondo East era ng’asuubira waakuyingira etteeserezo ly’eggwanga.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

 

BUGANDA EYANUKUDDE KU KYA BOBI WINE

Obwakabaka bwa Buganda buvuddeyo ku nsonga y’ettaka erisangibwa e Busaala okuliraana n’ekifo ky’abadigize ekya One Love Beach ey’omubanda wa Kabaka Robert Kyagulanyi amanyiddwanga Bobi Wine.

Kitegeezeddwa nti Bobie Wine ekifo kino ekiwerako yiika ennamba n’ekitundu yali takifuniranga liizi era nga kibadde kikyali kyereere y’ensonga lwaki abadigize babaddenga bakisimbamu mmotoka zaabwe.

BOBI WINE EBBANJA LINAATERA OKUMUSIIWUULA

Nga bwebaalugera nti lwakwaka nga misana kaakiro tabulamu,n’eby’omuyimbi Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobie Wine ssi birungi ebiro bino olw’amabanja agaagala okumutuuka mu bulago era agatakyamuganya na kwebaka ng’ow’olugambo lwaffe atutegeezezza nti asula akulungutana ssinakindi okunaaba enfunda eziwera mu kiro olw’olubuguumirize olwamuzinda oluva mu kweraliikirira.Tutegeezeddwa nti ekitongole ekiwoozi ky’emisolo kiwandiikidde muzzukulu wa Kayiira ono enfunda eziwera ng’abanjibwa ensimbi eziri eyo mu Bukadde bwa ssente za wano amakumi 54 okuli emisolo egiwoozebwa ku nnyingiza y’omuntu (Income tax) okuva mu mwaka gwa 2008 okutuusa leero ne kantanyi w’engassi olw’okulwawo okusasula.

Amalala agatusomoleddwayo galaze nti mwanamulenzi Bobie Wine yeefuulidde ddala nnampulirazzibi eri amabaluuwa agazze gamuweerezebwa nti ate bwanaagenda mu maaso n’okwesuulirayo ogwa nnaggamba ensimbi zino zandibalirwamu n’amagoba.Kimanyiddwa bulungi nti Omubanda wa Kabaka ono y’omu ku bayimbi ba wano ensimbi beziyitaba obuyitabi ng’alina n’amaka agatemya ng’omuntu g’tasobola kuwa muvubuka wa myakagye agasangibwa ku kyalo Magere ku ludda e Gayaza,ekizimbe kya Ssemaduuka,ekifo omukyakalirwa wano e Busaabala ku nnyanja Nnalubaale,amaato agakyakalirwamu mu kifo kino n’emmotoka ezaakazibwako ensajja.Gonna getunaagenda tukunojjolera okuva ew’omugagga kati atandise okutunula ebiriroliro tuli ba kugakutuusaako ng’ow’olugambo lwaffe bwanaagenda agawuliriza.