OWA URA AKOL YE YAGABA OBUWUMBI OMUKAAGA

Akakiiko k’ababaka akaakwasibwa ogw’okutaganjula ekivaabiransimbi eky’obuwumbi Omukaaga bagusalidde akulira ekitongole ekiwoozi ky’emisolo mu ggwanga ekya URA Dorris Akol olw’okuyisa olugaayu mu mateeka g’ekitongole kyakulira.

Alipoota y’akakiiko kano akakulirwa omubaka Abdul Katuntu eraze nti Dorris Akol yateeka omukono ku biwandiiko ebiggya ensimbi mu nsawo y’ekitongole nga tamaze kwebuuza ku lukiiko lukifuga.

DDALA SSEBAANA ASIBA BIKUTUKA

Embeera y’eyaliko Ssenkaggale wa DP John Sebaana Kizito yeeraliikirizza ab’enjuuye ne bannakibiina mu ddwaliro e Nakasero gyajjanjabirwa.Ssebaana Kizito yaddusibwa mu ddwaliro eryo oluvannyuma lw’okufuna ekisannyalalo ku lwa Kazooba essabbiiti eno.

Kenneth Paul Kakande ategeezezza nga bwebakola kyonna ekisoboka okulaba nga bataasa obulamu bw’omu ku bamanyiddwanga Enkuluze z’ekibiina.Ssebaana yaliko Ssenkaggale w’ekibiina kino ebisanja bibiri n’abeerako ne Mayor w’ekibuga Kampala,yaliko minister n’akulira neku bukiiko bw’eby’emizannyo mu Gov’t ya Beene.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO-MUGERERE E BUGERERE

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Mukasa Olw’okusatu ennaku z’omwezi ziri 21st omwezi guno ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga.

Leero tutunuulidde ennono z’erinnya ly’Ow’essaza Bugerere erya Mugerere.

Ekitundu ky’essaza lino ekiriranye amabira ga Kyaggwe kyayitibwanga Bulondoganyi nga n’abakibeeramu bayitibwa Balondoganyi era Obugerere bwennyini bwafugibwanga omukulu eyayitibwanga Namuyonjo n’abantube ne bayitibwa Banyala.

Omuzira Semei Rwakirenzi Kakungulu ye yagaziya ennyo Obulondoganyi/Obugerere buno ng’amaze okulwanyisa Namuyonjo eyali afugayo ku lw’Omukama wa Bunyoro.

Erinnya Mugerere lyali lya Balangira ba Banyala ab’enda ya Namuyonjo mu Bukama bwa Bunyoro wabula oluvannyuma lyalondebwa okusigala nga ly’ery’ow’essaza eryo.

KADAGA ALI KAMULI KU LUNAKU LWA SICKLE CELL

Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga Rebecca Alitwala Kadaga y’akulembeddemu abakungu ba ministry y’eby’obulamu okukuza olunaku lw’okujjuukirirako kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kya Sickle Cell ku mikolo egitegekeddwa e Kamuli olwa leero.

Emikolo gino gyakuvugirako omubala ogugamba nti ‘’Muveeyo mwogere’’ ku kirwadde kino nga Kamuli yalondebwa engeri oluvannyuma lw’okusangibwa nga yeemu ku zisingamu abantu abalina obulemu buno.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO-ERINNYA BOOGERE

Olwa leero lwa Nagawonye olw’Okutaano ennaku z’omwezi ziri 16th omwezi ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga.

Mu kawaayiro kaffe kano ak’Omumuli gw’eby’ennono,leero tutunuulidde erinnya Boogere.Erinnya lino litera okutuumwa ng’eribbule nga mu lulyo olwo lyaliko alirina ate abalala nebalituuma nga lya bwalule.

Erinnya lino lituumwannyo abaana ab’obulenzi naye ng’emirundi egisinga litera kuweebwa abo abaana ababa bazaaliddwa ng’embuto za bannyabwe ezo zoogereddwa bingi.

Erinnya lino lya lugero nga lugamba nti ‘’Bakale boogere nga bamugambye gwayagala’’ ekitegeeza nti emirundi egisinga omuntu bwayogerwako amazima tatera kukaalaamuka atera n’abita.

KABAKA AJJANJABYE AB’E SSINGO

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye ne yeetaba mu kugema abaana abakungaanyiziddwa ku ddwaliro lye Ntwetwe Health Centre III mu lussisira lw’eby’obulamu olwakubiddwawo Obwakabaka bwa Buganda.Atusakira ag’Embuga Zirimala Daudi eyessizza mu ddene n’awondera Omutanda ategeezezza nti abalwadde nkumi na nkumi be bajjanjabiddwa.Ono ayogedde n’omu ku basawo owa Mukwaya General Hospital akuliddemu banne n’ategeeza nti abasinga ku balwadde abajjanjabiddwa mu lusiisira luno basangiddwa n’omusujja gw’ensiri ng’abasinga ku bano babadde bakyala bazito n’abaana abato.

Ssaabasajja Kabaka wano w’asuubirwa okuva ate agende mu nteekateeka y’eby’enjigiriza era mu ssazalye lino erye Ssingo ewa musajjawe Mukwenda.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO – KIMERA

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Walumbe Olw’okubiri ennaku z’omwezi ziri 13th omwezi ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga.

Olwa leero njagadde tuyige ku nnono y’erinnya Kimera ery’Abalangira.

Kimera omubereberye yali mutabani wa Mulangira Kalemeera eyawangangusibwa mu Bunyoro ng’ono gyeyamuzaalira mu muka Kabaka wa Bunyoro Winyi ow’enseenene Wannyana.

Ng’Obuganda bulakasidde tewali Kabaka oluvannyuma lwa Ccwa Nnabakka okubula bwasalawo okunona Omulangira eyayitibwanga Wakyama Kalemeera gweyazaalira e Bunyoro oluvannyuma eyatuumwa Kimera ajje asikire entebe y’abajjajjaabe.

Ono yanonwa abataka abawerako mu kiseera Ssebwana weyakuumiranga Nnamulondo.

Abamu ku bataka Omulangira ono beyajja nabo okuva e Bunyoro kwaliko Katumba eyafuuka Mugema,Makumbi eyafuuka Kayiira GaajuuleNsamba Lukonge owe Buwanda n’abalala.

Omulangira ono Obwakabaka yabuuliira Ganda n’akuba Embuga ku Masanafu era bweyava awo n’agenda azimba ku Lubaga.

Ono abe Bunyoro gyeyazaalirwa era gyeyakulira be baamwogerako nti Omulangira eyamera ku Buganda Kimera,okuva olwo n’akazibwako Kimera.

Ono ye Kabaka ayogerwako okusinga okuleeta kuno Abanyoro olw’okuzaalirwa mu Lubiri lwa Kabaka waayo.

DR MACHAR SSI BAMATIVU KU NZIKIRIZIGANYA ZE KAMPALA

Oluuyi oluvvunkanira obukulembeze mu ggwanga lya South Sudan oluli emabega w’eyaliko omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga eryo lunyomodde entegeeragana eyatuukiddwako ne Gov’t ya wano ku kussa wansi eby’okulwanyisa n’okusitulanga endooliito mu ggwanga eryo ezitaggwa.

Amyuka Ssekamwa w’oluuyi oluwabula Gov’t eyo Col Lam Paul ategeezezza nti ebyo byabadde byoya byanswa.

NANDALA MAFABI ANYAZE ETTAKA

Omu ku banene ku luuyi oluwabula Gov’t ya kuno asongeddwamu olunwe mu kibbattaka.Munnayuganda akolera mu ggwanga lya South Africa Steven Wobweni agamba nti Nandala Mafabi aliko ensimbi zeyamuwola oluvannyuma lw’okumusingira ekyapa ky’ettakalye wabula oluvannyuma n’akitegeera nti yeekobaana n’abakungu b’eby’ettaka n’akyusa ekyapa kino n’akizza mu mannyage.

Ono agamba nti yaalibadde mwetegefu okusasula ensimbi z’omukulu ono ng’amuteereddemu n’amagoba wabula amusaba Obuwumbi Butaano ssonga n’ettakalye atandise okulizimbako ebizimbe oluvannyuma lw’okumutegeeza nga ye bwatali muwozi wa nsimbi.