ABAKULU B’AMASOMERO BENNYAMIDDE,ABAANA TEBATANDISE

Ng’amasomero gagguddewo olusoma olw’okusatu olwa leero mu butongole,abazadde mu district z’amasosso g’eggwanga batono abasobodde okuzza abaana baabwe ku masomero ng’okuvaako mu district ye Luweero agatusakirayo Ssemwanga Lutaaya atalaaze amasomero agasinga ng’agalimu abaana abasoba mu lusanvu kusomyeko nga kikumi kyokka ng’ag’abaana abali wansi w’ebisatu abaana abatawera makumi ataano be bokka abasomye.

Okuvaako mu district ye Mpigi agatusakirayo John Bemba naye atutegeezezza nti kyamazima abaana tebalabise ng’abazadde beekwasizza bbeeyi ya kasooli kuba wansi ate nga kye kirime kyebasuubiramu ebisale by’abaana.Eno amasomero ga Gavumenti agasinga tegawezezza baana makumi ataano ataano abasomye newankubadde nga bo abasomesa babaddeyo.

ABAASUDDE ABAYIZI MU BY’EKY’OMUSANVU EBY’OKWEGEZAAMU BAGOBWE

Abakulira eby’enjigiriza mu district ye Rukungiri bateekateeka kugoba na kussa abamu ku bakulira amasomero mu district eno bwekanaabatanda nebalemererwa okusitula omutindo gw’eby’enjigiriza mu masomero gaabwe.

Jackson Turyahumura akulira eby’enjigiriza ategeezezza nti abakulu b’amasomero eruuyi eyo bangi beekolera kutuusa luwalo nti amasomero weegali nayeng’abaana b’eggwanga abagayigiramu mpaawo kyebayiga era nga bagenda mu maaso na kugwanga bigezo mwaka ku mwaka kyagambye nti bakooye okulaba n’okuwulira.

Ono waaviiriddeyo bwati ng’abayizi ab’ekibiina eky’omusanvu abaatudde ebigezo byabwe eby’okwegezaamu omwezi oguwedde ab’amasomero ga Gov’t enkumi nnya mu lunaana mu kyenda mu basatu okuva mu district okuli;Kabale,Rubanda ne Rukungiri baabigudde n’enkoona nezinywa ssong’amasomero gyebasoma galina abagakulira n’abasomesa abasasulwa emisaala.

Ye Richard Mugayewenki akulira abalambuzi b’amasomero mu Rubanda okugwa kuno akunenyerezza basomesa kwebulankanyanga ku mirimu nga n’abamu baatandikadda okuvuga pikipiki za boda boda.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: smsmedia.ug