MINISTER OKUGGYAKO AMASIMU KUBIMUZAALIDDE

Ababaka mu lukiiko lw’eggwanga olukulu bateekateeka kuggya bwesige mu minister w’eby’amawulire n’amagezi ag’ekikugu Frank Kajiji Tumwebaze lwakunyomoola kusaba kwabwe okwongezaayoko okuwandiisa amasimu ga bannayuganda n’ennangamuntu okumala omwaka mulamba.

Tumwebaze era yeetaagibwa n’omukubiriza w’olukiiko luno Rebecca Alitwala Kadaga ng’amaze entuula 15 nnambirira nga talabikako.Obukadde n’obukadde bwa bannayuganda bukyasobeddwa eka ne mu kibira olw’amasimu gaabwe okusalwako ssonga beewandiisa n’abamu nebafuna n’obubaka obubakakasa nti okwewandiisa kwabwe kuyiseemu.

Kino kiddiridde Gov’t okulagira kkampuni z’eby’empuliziganya okusalako amasimu gonna agaali gatanneewandiisa ekyayogerwa minister Frank Kajiji Tumweebaze bweyayogerako ne bannamawulire ku ssengejjero lyago.

OGW’OKUWANDIISA AMASIMU GUGOBEDDWA

Kkooti enkulu mu Kampala egobye okusaba kw’okwongezaayo nsaleesale w’okuwandiisa amasimu ow’omulundi ogw’okubiri nga bweyali esabiddwa abalwanurizi b’eddembe aba Trumpet Uganda Ltd nga bakulembeddwamu Norman Tumuhimbise.

Omulamuzi Steven Musota ategeezezza nti takyalaba nsa mu kusaba kuno oluvannyuma lwekwatwalwayo ate nsaleesale n’ayongezebwayo okumala omwezi omulala mulamba okutuusa olunaku lw’enkya.Ono alagidde ba puliida b’enjuyi zombi okulaga webanaaba batuuse ku nsonga y’okweyambisa n’ennangamuntu zokka.

OBUKADDE 11 BAWANDIISIZZA AMASIMU

Abantu abasoba mu Bukadde ekkumi n’akamu be bamalirizza okuwandiisa amasimu gaabwe mu nteekateeka y’okugakwataganya ne kkaada z’eggwanga eyalangirirwa gyebuvuddeko.

Minister w’eby’obutebenkevu mu ggwanga Henry Tumukunde mu lukungaana lwa bannamawulire olutuuziddwa ku kitebe kya UCC ategeezezza nti Gov’t mmalirivu okuggyako amasimu ga bannayuganda abanaaba bajeemedde enteekateeka eno.Ye akulira ekitongole kya UCC Godfrey Mutabaazi ategeezezza nti basuubira okuwandiisa ssimu Obukadde amakumi 23.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

OKUWANDIISA AMASIMU GWONGEZEDDWAYO

Gov’t eramula kuno eyongezzaayo nsaleesale w’okuwandiisa amasimu okutuusa ng’ennaku z’omwezi 19th omwezi ogujja ogw’okutaano.

Ssaabaminister Dr Ruhakana Rugunda waaviiriddeyo okuyisa ekirangiriro kino ng’ebula lumu lwokka nsaleesale aggweeko.

Kinajjukirwa nti essabbiiti ewedde ekitongole ekivunanyizibwa ku biweerezebwa ku mpewo n’emikutu gy’amasimu kyawa bannayuganda ennaku musanvu zokka okuddizaamu obuggya obuwandiike bw’amasimu gaabwe.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo Credit: Dignited