MILD MAY EDDUUKIRIDDE ABALI KU DDAGALA LYA MUKENENYA

Eddwaliro lya Mild May Uganda obwanga bw’okujjanjaba abalwadde b’ekirwadde kya Kityatabaala kati babuzzizza mu kuddaabiriza bali ku ddagala basobole okulitambulirako obulungi ate nalyo libagase nga kino kiddiridde ebibadde bitandise okuwulirwa nti abalwadde bangi balemererwa eddagala abasing olw’eby’endya ebitatuukana nalyo.

Akulira eddwaliro lino Barbara Mukasa ategeezezza nti kati endya y’abalwadde abali ku ddagala ye nsonga nga batandise okutalaaga ebitundu by’eggwanga awali ebbula ly’emmere badduukirire abalwadde n’emmere esaana.