ABAYISIRAAMU BASIBIRIDDWA ENTANDA YA KWAGALANA

Mufti wa Uganda Sheikh Shabban Ramathan Mubajje abaddu ba Allah Subu-annah Wa-ta-Allah abasibiridde entanda y’okwagalana,okusonyiwagana awamu n’okwewalira ddala ekiyiwamusaayi ekyegiriisiriza mu mawanga g’abawarabu.Ono asinzidde ku kitebe ekikulu eky’obusiraamu mu ggwanga n’akuutira abayisiraamu okusigala ne Nniiya gyebabadde nayo mu mwezi omutukuvu gwebamazeeko basigale nga bayamba abateesobola engeri okugaba,okusiiba n’okusonyiwa Allah gyeyabijjuzaamu empeera ezibooga obuboozi.

Ye district Khadi wa Mubende ne Mityana Sheik Abdul Noor Twebaze asoomozza gavumenti okuvaayo eyingire mu nsonga ezikyalemesezza essiga eddamuzi okukola obulungi emirimu nadda mu kiseera kino ng’obumenyi bw’amateeka bweyongera.Ono agambye nti abantu bangi baayoolebwa nebaggalirwa ku byekuusa ku kufa kw’eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi wabula nga bannaUganda bakyalemeddwa okukakasibwa nti oba ddala omuyeye gw’abantu bonna abaakwatibwa ddala beenyigira mu kutta omunene wa poliisi ono.

 

ABAYISIRAAMU BAKAAYE OLW’OKUBALUMBANGA

Abayisiraamu Abasarafu bakutte mu Mmanvu nebajulira amaduudu bwebaddukidde mu mbuga z’amateeka nga bavunaana Gov’t eramula kuno olw’ekizindo kyebaabakolako essabbiiti ewedde ku muzikiti gwe Nakasero.

Bano nga bakulembeddwamu Kifampa Siraj Nsambu,Habib Buwembo,ne Yusuf Masuda Masuda bategeezezza nti ng’ennaku z’omwezi amakumi 27thomwezi oguwedde ab’eby’okwerinda baazinda omuzikiti gwabwe nebagwaza n’okugwaza awataali kutemezebwako wadde okubeera n’ekiwandiiko ekibakkiriza okukola ekyo.

Bano baagala kkooti eragire ab’eby’okwerinda okuzza ebyabwe byebaggya mu woofiisi eno awatali kubateerawo kakwakkulizo konna.Mu mpaaba yeemu bano baagala Kkooti eragire Gov’t okubaliyirira olw’ebyabwe ebyayonoonebwa ku olwo.

Mu byaboyebwa mulimu pikipiki emu,ebyuma bi Kalimagezi,amasimu ag’omungalo,ensimbi enkalu Obukadde amakumi 25 okwo ssaako ebiabo omuli emirandira gy’eddiini yaabwe.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: Uganda Muslim Brothers and Sisters(UMBS) – WordPress.com