musawo

SSEMAKA YESSE OMUSAWO W’EKINNANSI BWAMULAGUDDE

Abatuuze be Kabira mu ggombolola ye Maanyi ekisangibwa mu district ye Mityana bazikubyemu makiikakiika mutuuze munnaabwe Abimaana Paul bweyeewadde obutwa obumuttiddewo ekiviiriddeko mukyalawe okuzirika n’atwalibwa mu ddwaliro e Mityana nga biwalattaka oluvannyuma lw’omusawo w’ekinnansi okubategeeza nti ab’oluganda lwabwe baabaloga era essaawa yonna baakufa.

Kitegeezeddwa nti ono wabadde wayise akaseera mbu nga byakola tebitambula bulungi bwatyo n’asalawo agendeko ku ndagu era mu kitundu kino Emmandwa n’emulagula eddogo eritawoneka,bwazze eka aguze butwa neyetta.

[fbcomments data-width="100%"]