Net photo

SSEJJUSA LEERO ASULA LUZIRA

Eyaliko omukwanaganya w’ekitongole kya bambega ba Gov’t Gen David Ssejjusa amanyiddwa nga Tinyefuza ddaaki asindikiddwa ku alimanda e Luzira agira yeekavvulira bbando n’ebijanjaalo ebimaze ebyeya n’ebisiibo mu materekero okutuusa ng’ennaku z’omwezi 9th omwezi guno ogwa Mukutulansanja olwa Walumbe essabbiiti ejja.

Gen Ssejjusa asomeddwa emisango esatu mu maaso g’abakungu mu magye mu kkooti y’amagye ebadde ekubirizibwa Ssentebe waayo Gen Levy Karuhanga nga gino gy’egimuzaalidde akabasa okubadde;ogw’okujeemera ebiragiro bya mukaamwe akulira amagye Chief of Defence Forces,okwebulankanya ku mulimu nga tafunye lukusa n’okw’etaba mu by’obufuzi nga kwagasse n’okwogera ebitaggyansa ebikontana n’amateeka g’amagye g’eggwanga mwakyaweerereza.Ssejjusa yakwatibwa mu ggandaalo eriyise bweyasangibwa mu makaage wano e Naguru n’akunguzzibwa ekiwejjowejjo mu nkambi y’abaserikale ba poliisi ey’abasibiramubbwa.

[fbcomments data-width="100%"]