omuserikale-eyattirwa-ababe-ayagala-kuliyirirwa-buwumbi

OMUSERIKALE EYATTIRWA ABABE AYAGALA KULIYIRIRWA BUWUMBI

Omuserikale eyafiirwa abantube bwebaasasirwa amasasi muserikale munne eyakoleranga mu nkambi ya poliisi e Makindye amale atte abantu omusanvu mu mwezi gwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga omwaka guno awazeewaze Gov’t n’agikuba mu mbuga z’amateeka ng’ayagala aliyirirwe Obuwumbi Bubiri bulambirira olw’okufiirwa mukyalawe n’abaana baabwe babiri.

Ono ategeerekesenga Kisenyi Israel ayise mu bannamateekaabe aba Nuwagira,Tusiime and Company Advocates bwategeezezza nti Sgt Isaac Obua eyakoleranga mu kkeberero ly’eddwaliro lya Makindye Health Centre III awatali kukyokoozebwa wadde okuwenyezebwako omuntu yenna yatunuza omudumu gw’emmundu mu b’omu makaage n’abatta nga mpaawo mbulubujju yonna.

Ssaabawolereza wa Gov’t aweereddwa ennaku 15 abeerenga amalirizza okuteekayo okwewozaako kwa Gov’t.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

 

[fbcomments data-width="100%"]