mengo

OMUMULI GW’EBY’ENNONO- MENGO

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Kiwanuka Olw’okuna,ennaku z’omwezi ziri 22nd omwezi guno ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga.

Tuzze twogera ennono z’amannya g’ebitundu eby’enjawulo wano mu ggwanga naye tubadde tetwogeranga ku nnono y’erinnya Mengo Embuga y’Obwakabaka bwa Buganda.

Mengo lwerusozi okutudde Olubiri lwa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda ng’olusozi luno lutudde ku migemo gy’enjazi ez’amanyi era ng’enjazi zino abantu baazitambuliranga engendo okujja okuseererako emmere yaabwe.

Ejjinja omuntu kwasirira liyitibwa Lubengo,ku lusozi luno kwaliko amayinja gano mangi abantu ge beeyambisanga okusa emmere yaabwe ey’empeke n’endala bwebatyo nebalwogerangako nti tugenda eri ku lusozi lw’Emmengo.

Ejjinja lino erimu liyitibwa Olubengo ate ennyingi ne ziyitibwa e Mmengo,olusozi luno okubeerako enjazi zino ennyingi kwe kwaluviira okuyitibwa Mengo.

Abasenze abaava mu bizinga bye Ssese bamale basenge mu bitundu bye Mmengo be baatandiikiriza okuseerera emmere yaabwe ku mayinja gano.

Mmengo yazimbwako Olubiri olwasookera ddala mu mwaka gwa 1885 nga lwazimbwa Sekabaka Mwanga II Kabaka wa Buganda ow’amakumi 31st.

[fbcomments data-width="100%"]