ssese

OMUMULI GW’EBY’ENNONO :Erinnya ly’Ow’essaza lya Ssaabasajja Kabaka erya Ssese erya Kweba

Leero lwa Kiwanuka Olw’okuna,ennaku z’omwezi ziri 18th omwezi ogwa Muzigo Ogw’okutaano.

Mu kawaayiro kaffe kano ak’omumuli gw’eby’ennono leero tutunuulidde ennono y’erinnya ly’Ow’essaza lya Ssaabasajja Kabaka erya Ssese erya Kweba.

Ebyafaayo bya Buganda bigamba nti omukulu w’essaza lino eyasooka yayitibwanga Ssese era yabeeranga ku kizinga Buggala eyo mu Ssese.

Kigambibwa nti Ssese ono yali musajja mumpinnyo gwoyinza okuyita ‘Mumpyatundakwakyeya’ era nga mulwanyi nnyo kale yalina Engabo nga bwagikwata emubikkira ddala yenna.

Ono buli lweyagikwatanga nga kyenkana akwebera bukwebezi muyo,wano webaava ne bamukazaako ‘Nkwebe’ olw’okukwebereranga mu Ngabo ye.

Abataka buli lwebaabanga boogera ku Sseze bweyabanga ajja gyebali nga bagamba nti ‘Nkwebe wuuyo ajja akwebera’ olw’obumpibwe.

Tebaggya okwo erinnyalye erya Ssese nebalyerabirira ddala n’ayitibwanga Kweba n’olwa leero,olwo erirye erya Ssese neridda ku bizinga byonna ebyetoolodde Buggala.

Wabula erinnya lyetwogeddeko waggulu awo erya Nkwebe lyo lituumwa mu kika ky’ab’Emmamba wewaawo nga liggwaayo Nkwebere.

[fbcomments data-width="100%"]