cholera

OLUTALO KU CHORELA LUTONGOZEDWA

Ministry y’eby’obulamu ng’eri wamu n’ekitongole ky’ekibiina ky’amawangamagatte ekikola ku nsonga z’abaana ekya UNICEF ne WHO batongozza enteekateeka ezigenda okuyitwamu okuziyiza awamu n’okumalira ddala kuno ekirwadde kya Chorela.Mu nteekateeka zino abavunanyizibwa ku kulwanyisa ekirwadde kino mwebagenda n’okuyita okunonya ejjamba erinaayamba mu kaweefube ono.

Mu kiwandiiko ekiteereddwako omukono akulira eby’obujjanjabi mu ministry eno Kakensa Anthony Mbonye,kitegeezeddwa nti ekirwadde kino kye kimu ku bikyasingidde ddala okubeera ekizibu eri eby’obulamu bwa bannayuganda n’okusingira ddala abawangaalira mu bifo ebirina obuzibu n’eby’obuyonjo.

[fbcomments data-width="100%"]