uganda5

OBULULU OBUNEEYAMBISIBWA MU KULONDA BUTUUSIBWA NKYA

Obumu ku bukonge bw’obululu obugenda okukozesebwa mu kulonda okubindabinda omwezi ogujja okw’omukulembeze w’eggwanga n’ababaka mu lukiiko lw’eggwanga olukulu butuusibwa mu ggwanga olunaku olw’enkya.

Omuwandiisi w’akakiiko k’eby’okulonda Sam Rwakoojo ategeezezza nti obululu buno obutuusibwa enkya bukubiddwa mu ggwanga lya South Africa mu kitongole ekiyitibwa Para Media.Okulonda kuno kwa ng’ennaku z’omwezi 18th omwezi ogujja ogwa Mukutulansanja nga buli katabo kalimu obululu amakumi 50 ssong’obwabakungu mu Munisipaali ez’enjawulo bwakukubirwa wano mu kkampuni ya Picfare.

 

[fbcomments data-width="100%"]