police

NNANNYINI SSOMERO AKWATIDDWA LWAKUTTA MUYIZIWE

Poliisi e Rukungiri etandise okunonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku mwana ow’obulenzi abadde atemera mu gy’obukulu 13 agambibwa okuttibwa mbu bweyasangiddwa ng’abba emmwanyi.

Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu lya Kabale Elly Matte ategeezezza nti omugenzi ye Innocent Birungi abadde asoma ekibiina eky’omusanvu mu ssomero lya Nyakisenyi Day and Boarding PS erisangibwa ku kyalo ekimanyiddwa nga Nyakisenyi ekisangibwa mu district ye Rukungiri nga kigambibwa nti yatulugunyiziddwa omukyala Perinah Muhwezi nnannyini ssomero lino n’omuserikale abadde akuuma essomero kati ye eyabinnyise mu nsuwa nga bamulanga kubba mmwanyi.

Matte ategeezezza nti Perinah abali mu ttaano nti era ng’okunonyereza kuwedde baakumusimba mu mbuga z’amateeka abitebye atenga n’okunonya omuserikale eyeemuludde obusota bwekugenda mu maaso.


Photo:africaspeaks4africa.org

[fbcomments data-width="100%"]