nambooze-yandikangavvulwa-abakulu-mu-kibiina

NAMBOOZE YANDIKANGAVVULWA ABAKULU MU KIBIINA

Omumyuka wa Ssenkaggale wa DP mu Buganda omubaka wa Mukono Betty Nmbooze yandisimbibwa mu kakiiko akakwasisa empisa mu kibiina ssinga alemerako n’agenda mu maaso ne ttabamiruka gwateekateeka.

Nambooze ategese olukungaana olw’abakulembeze mu Buganda okwegeyaamu ku bisoomoza ekibiina ku lwokutaano nga 31 kyokka nga kino Ssenkagale w’eKibiina Nobert Mao akiwakanya.

Amyuka omwogezi w’ekibiina Waiswa ategezezza nti Mao yagenze ewa Nambooze amusabe okuyimiriza ttabamiruka wa Buganda ye kyagamba nti kigendereddwamu kwabuluza mu Kibiina n’ategeeza ng’ensonga zaayogerako bweziri entuufu wabula n’asaba bakiweemu akadde.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo Credit: Daily Monitor

 

[fbcomments data-width="100%"]