kamalabyonna-mayiga-yeekulisizza-emyaka-ena

KAMALABYONNA MAYIGA YEEKULISIZZA EMYAKA ENA

Kamalabyonna wa Buganda Oweekitiibwa Charles Peter Mayiga ategeezezza nti essaawa yonna waakwanjulira Obuganda omulimu gw’okuzimba Amasiro ga Bassekabaka ba Buganda age Kasubi wegutuuse.

Mukuumaddamula asinzidde mu Bulange Mengo n’ayanjulira Olukiiko ebintu eby’enjawulo byakoze ekiseera kye yaakamala n’Eddamula ya Buganda eky’emyaka ena era n’asiima abataka n’Obuganda bwonna okumuwa omukisa ogukwasizaako Obuganda okugenda mu maaso.Kamalabyonna ayogedde ne ku ministry y’Abaganda ababeera ebweru wa Buganda ne Uganda.

Ono yakwasibwa Ddamula wa Buganda ng’ennaku z’omwezi 15th ogw’okutaano omwaka gwa 2013.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo Credit: Daily Monitor

[fbcomments data-width="100%"]