matembe

MATEMBE ATABUKIDDE AB’EBY’EMISOLO

Eyaliko minister w’eby’empisa n’obuntubulamu Miria Koburunga Matembe ayambalidde abakungu ba ministry y’eby’ensimbi n’okuteekerateekera eggwanga ssaako ab’ekitongole ky’eby’emisolo olw’okusoloozanga bannayuganda obulindo n’obulindo bw’ensimbi nga bayita mu misolo wabula nebatabaako kyebabakolera.Ono asinzidde mu lukungaana olw’okukubaganyirizaamu ebirowoozo olutuuziddwa wano mu Kampala n’agamba nti bannayuganda tebaalikaluubiriziddwa kuweesebwanga misolo gyebataganyulwamu.Matembe agamba nti bo ng’abaalaba ku Gov’t ezaayita balaba ebituli bingi mu buweereza obuliwo ebiro bino.

Ku nsonga z’ababaka ababiri abaatwalibwa ebweru okujjanjabwa Robert Kyagulanyi ne munne Francis Zaake,Matembe atabukidde minister w’eby’obulamu Jane Ruth Aceng eyasinziira ku ssengejjero ly’amawulire n’ategeeza nti eggwanga lirina obujjanjabi obumala obwali bwetaagibwa mu kujjanjaba ababaka bano nga talabawo nsonga lwaki baali baagala okutwalibwa ebunaayira nga buli kimu wano weekiri.Ono avudde mu mbeera n’agamba nti obanga eggwanga lirina buli ekyetaagisa mu by’obujjanjabi talaba nsonga lwaki ba minister ab’eby’obulamu abo bennyini buli lwebalwalako batwalibwa bunaayira okujjanjabwa.

 

[fbcomments data-width="100%"]