mao-aboggodde-abulako-kuluma

MAO ABOGGODDE ABULAKO KULUMA

Ssenkaggale wa DP Norbert Mao aweze nti okufa n’obutanyagwa waakulwana bwezizingirire okulaba ng’amalawo emirerembe egyerimbise mu kibiina kyakulembera egikulembeddwamu eyali omumyukawe mu Buganda ne banne baayise bannakigwanyizi mu kibiina kino era abakolerera okukitandaggira ennume y’ekigwo.

Mao mu bukambwe obw’ekitalo ategeezezza nti bano abeefudde ba Mawale mu kibiina basaanidde okulondako eky’okugendera ddala oba okudda nebagondera entambuza yaakyo okusinga okwefuula abakirwanirira atenga balwanyisa kirwanyise.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

 

[fbcomments data-width="100%"]