Daily Monitor Photo

KADAGA AKAKASIZZA NTI BALEMESEBWA GAVUMENTI OKUSALAWO

Abakubiriza b’enkiiko z’eggwanga ez’amawanga agatwalibwako Bungereza ng’amatwale basabiddwa okulwananga obwezizingirire basigazenga obuyinza bwabwe ebitongole bya Gov’t mwebakolera biremenga kubalinnyirira na kubalemesa kutambuza bulungi buvunanyizibwa bwabwe mu nkiiko z’amawanga zebakubiriza.

Bwayogeddeko eri abakungu abaakiikiridde amawanga ag’enjawulo ag’oluse luno abatudde mu ggwanga lya Malaysia mu kibuga Kota Kinabalu,Rebecca Alitwala Kadaga Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga wano ategeezezza nti kyamazima ddala enkiiko z’amawanga gano zitera okwekiikwa ekitongole ekiramuzi n’emitendera gyakyo eky’enjawulo weewaawo nga nabyo bibeera n’emirimu gyabyo egy’enjawulo n’enkiiko za baminister egibiweebwa Ssemateeka w’amawanga.

Ye mukubiriza munne owa Rwanda Donatille Mukabaliisa akakasizza kino n’agamba nti enkiiko z’amawanga ziteekeddwa okusigazanga obuyinza bwazo ziremenga kuyingirirwa.

 

 

[fbcomments data-width="100%"]