kadaga

KADAGA AKAAYIDDE ABABAKA BANNA NRM KU KYANKWANZI

Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Rebecca Alitwala Kadaga alidde mu ttama n’alagira ababaka bannakibiina kya NRM abakadde abali mu lusirika mu bbanguliro ly’eby’obukulembeze banguweko badde mu lukiiko lw’eggwanga bakakkalabye emirimu gyabwe kubanga olusirika mwebeesibidde lwateekerwateekerwa babaka bapya bokka.

Ono okukangula ku ddoboozi kiddiridde minister w’eby’obulamu okubulawo mu lukiiko mu kiseera waabadde yeetaagirwa atangaaze ministry ye weetuuse n’okulwanyisa ekirwadde ky’omusujja gw’ekibumba ekimanyiddwa nga Hepatitis B.Ensonga y’ekirwadde kino ebadde nkukunavunnyo mu palamenti eno ey’omwenda enaatera okusattululwa n’okusingira ddala mu bukiikakkono n’obuvanjuba bw’eggwanga.

Kadaga agambye nti ababaka abakadde basaanidde badde batere batandike ku nsonga z’embalirira y’eby’ensimbi ey’omwaka 2016/2017 eteekeddwa okuggwa ng’ennaku z’omwezi amakumi 28th omwezi ogujja.

Photo: www.monitor.co.ug

[fbcomments data-width="100%"]