tumwine

GAVUMENTI YEESAMBYE EBY’OKUSASULIRA OBUJJANJABI BWA BOBI WINE NE ZAAKE

Ministry y’eby’obulamu esambazze ebibadde bigambibwa nti akakiiko k’eby’obulamu ke kaalwisa okutwalibwa kw’ababaka ababiri Robert Kyagulanyi ne munne Francis Zaake okujjanjabwa.Bwayogeddeko ne bannamawulire ku Ssengejjero lyago Minister w’eby’obulamu Dr Jane Ruth Aceng ategeezezza nti oluvannyuma lw’okwanguya kw’omubaka Kyagulanyi n’abantube okukkiriza okukeberebwa abasawo ba Gavumentit yayanguyirwa okutwalibwa ebunaayira okujjanjabwa wabula munne Zaake n’abantube baalwawo okusalawo okumukkiriza okukwatibwako abasawo ba Gov’t.

Aceng ategeezezza nti Omubaka Zaake yagenda okukkiriza okukeberebwa lwali lwa Mukaaga atenga abasawo baali bayingidde ggandaalo nga y’ensonga lwaki baamukeereddeko lwa Bbalaza n’akeberebwa era n’akwasibwa ab’eby’okwerinda nabo bamute agende nga bwegwabadde.

Minister Aceng wabula akakasizza nti Gavumenti tegenda kusasulira bujjanjabi bwa babaka bano olw’ensonga nti embeera mwebaali yali teyeetaaga kutwalibwa bunaayira wabula bo bennyini baayagala baweerezebweyo ob’olyawo bafune obujjanjabi bwe baayagadde sso ssi bwebaalibadde beetaaga okusobola okutereera obulungi.

 

 

[fbcomments data-width="100%"]