shield

OMUMULI GW’EBY’ENNONO: ERINNYA NGABO – NGABOTEKYALA

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Kazooba Olwa Bbalaza,ennaku z’omwezi ziri 12th omwezi ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga.

Mu kawaayiro kaffe kano ak’Omumuli gw’eby’ennono leero tutunuulidde erimu ku mannya agaava mu ntabaalo za Buganda n’amawanga amalala erya Ngabo.

Engabo emanyiddwa ng’eky’okulwanyisa ekitangira omutabaazi/omulwanyi obutafumitwa Ffumu lya mulabe eky’okulwanyisa  ekyakozesebwanga ennyo mu nnono y’entalo.

Bakyala b’abatabaazi abaabanga basigadde n’embuto bwebaazaalanga abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala b’abatuumanga Ngabo erinnya lyebaasalangako obusazi.

Erinnya lino mu bulambirira liri ‘Ngabotekyala’ eriva mu lugero olugamba nti ‘‘Nngabotekyala etabaala butabaazi’’

Abantu abaateranga okutuumwa erinnya lino tebaabanga bangu, era abazze bagoberera eby’obufuzi bya wano mujjukira bulungi Pastor Happy David Ngabo eyasabisanga e Najjanankumbi ku kitebe kya FDC.

Erinnya eddala eryefaananyiriza ku lino lya Ngabompya ewoomera Omutabaazi.

[fbcomments data-width="100%"]