e-nwoya-baakugema-hepatitis-b

E NWOYA BAAKUGEMA HEPATITIS B

Abatwala eby’obulamu mu district ye Nwoya bamalirizza enteekateeka z’okutambula nga bagema abaana b’amasomero n’abataka ekirwadde ky’omusujja gw’ekibumba ogwa Hepatitis B nga kiddiridde omuwendo gwa bano abagenda ku ddwaliro ekkulu eruuyi eyo okubagema ekirwadde kino okulinnya.

Amyuka Ssentebe wa district eno Betty Kibwota ategeezezza nti abataka abasukka mu 100 be bagenda ku ddwaliro ekkulu erisangibwa mu ggombolola ye Anaka okujjanjabwa omusujja guno buli lunaku ng’abantu 76 be baakakeberebwa nebasangibwa nakyo.

Ku luuyi lw’eby’enjigiriza,abitwala Erwenyo Richard eby’enjigiriza ebitali bya mulembe eruuyi eno abitadde ku butabeera na basomesa bamala nga bwegwalibadde.

Ono ategeezezza nti okusinziira ku muwendo gw’abasomesa be balina okubeera nabo mu masomero ga Gov’t ku madaala gombi erya Primary ne Secondary babuzaako abasomesa 206 ekiteekawo omwaganya omunene ennyo ng’ekiseera kino balina amasomero ga Primary amakumi 48 Primary ne senior nga buli limu lirimu abasomesa ekinene ennyo bana bana abakola.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo Credit: Red Pepper

[fbcomments data-width="100%"]