Asuman-Lukwago

CHINA EJUNYE ABALWADDE N’EBITANDA EBIPYA

Abalwadde ababadde baseegeranga ku bitanda ebikadde okutali na mifaliso nga n’ebimu bizizikiddwa mataffaali mu malwaliro ga Gov’t naddala mu masosso g’ebyalo badduukiriddwa omukago wakati wa Gov’t ya Uganda ne China.

Ng’ayogerako ne bannamawulire wano mu Kampala,Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu ministry y’eby’obulamu Dr Asuman Lukwago ategeezezza nti nga bayita mu mukago wakati wa Gov’t eramula kuno ne banywanyi baayo aba China bategese ebitanda ebipya 7000 n’emifaliso gyakwo bidduukirire embeera ebadde tekyali nnungi mu malwaliro agamu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Dr Lukwago agamba nti ebitanda bino n’emifaliso byakugabwa mu malwaliro ag’enjawulo ge balaba ng’embeera yaabyo mugo mbi ddala nga baakugaba wakati w’amakumi 24 ne kikumi buli ddwaliro eddene atenga mu ngeri yeemu baakugenda nga bwebaggyayo ebikadde byonna ebikyasobola okutereezebwa biddaabiribwe n’ebiggweeredde ddala ku mpagala bifulumizibwe.

Enteekateeka eno esuubirwa okutandika mu ssabbiiti bbiri gyebujja.

[fbcomments data-width="100%"]